
Dr. Ssemuddu (wakati) oluvannyuma lw’okusaazisa Abasiraamu.
Bya HANNINGTON NKALUBO ABASIRAAMU mu ggwanga basabiddwa nti engeri akalulu gye kawedde abaawangudde kati pulaani yonna bagitunuulize kukolera bantu ate n'abaagudde balinde okuvuganya okuddako.
Baategeezezza nti olw'embeera y'obunkenke ebaddewo, Gavumenti esobola okuteekawo akakiiko akazza emitima gy'abanyiivu abaawanguddwa n'abalowooza nti akalulu kaabwe kabbiddwa olw'obulungi bw'emirembe mu ggwanga.
Ku balonzi abaakubye akalulu kaabwe kyokka be baalonze ne batayitamu, yabagumizza kyokka n'abasaba nti ekyo Allah kye yabageredde era bagende n'ekyo. Bino byayogeddwa eyali Ambasada wa Saud Arabia, Dr. Yahaya Ssemuddu bwe yabadde asaazisa Abasiraamu ku muzikiti gwa Swidiq mu kalittunsi okumpi n'akatale ka USAFI oluvannyuma lw'okulonda okuggwa.
"Tetwagala ntalo wadde okuwulira abalwana. Twagala mirembe era abantu mukuume emirembe naddala ababaddemu n'ekirowoozo ekikola ebintu ebitagoberera mateeka," Dr. Ssemuddu bwe yategeezezza."
N'agattako nti Abasiraamu bajjumbidde nnyo okulonda ate nga bangi beesimbawo mu bifo ebyenjawulo n'asaba gavumenti nti ekiseera ky'okugabanya ebifo bwe kinaaba kituuse, erowooze nnyo ku Basiramu kubanga balina ebifo bitono ate nga bangi baayiseemu.
Yasabye abawagizi obutageza kusoomooza be baawangudde, wabula ebirowoozo babiteeke ku kukolera abantu be bakulembera awatali kusosola.