TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Boodabooda etomedde ow'emyaka 10 abadde atunda ebindaazi

Boodabooda etomedde ow'emyaka 10 abadde atunda ebindaazi

Added 24th January 2021

Omuwala ow'emyaka 10 akedde okutambuza ebindaazi okufuna ensimbi eziyimirizaawo ffamire ye n'okufunamu ebisale by'essomero atomeddwa omuvuzi wa boodabooda ebadde awenyuka obuweewo.

Abatuuze nga badduukirira Nambalirwa eyatomeddwa boodabooda.

Abatuuze nga badduukirira Nambalirwa eyatomeddwa boodabooda.

Omuwala ow'emyaka 10 akedde okutambuza ebindaazi okufuna ensimbi eziyimirizaawo ffamire ye n'okufunamu ebisale by'essomero atomeddwa omuvuzi wa boodabooda ebadde awenyuka obuweewo. (Ebif. Bya Henry Nsubuga)

 

Owa boodabooda eyatomedde omwana ng'ayaziirana.

Gift Nambalirwa y'atomeddwa boodabooda nnamba UES 007P ebadde evugibwa Denis Kintu omutuuze w'e Terere mu Ntenjeru-Kisoga Town Council mu disitulikiti y'e Mukono.

Akabenje kano kagudde ku kyalo Kame mu Mukono Central divizoni mu munisipaali y'e Mukono ku luguudo oluva e Mukono okudda e Katosi ku mwalo.

Juliet Zawedde omutuuze mu kitundu omugudde akabenje agambye nti Nambalirwa tafulumizza musaayi wadde ng'alaze ng'alumiziddwa nnyo nga n'okwogera takyayogera ng'ayinza n'okuba alina ebimu ku bitundu by'omubiri okuli emikono n'amagulu ebimenyese.

Abatuuze nga batadde Nambalirwa mu mmotoka bamutwala mu ddwaaliro.

Abatuuze bamudduukiridde ne bamufunira entambula okumuddusa mu ddwaaliro lya Mukono General Hospital okulaba ng'afuna obujjanjabi.

Ye Kintu abadde avuga bodaboda  ng'aweese omusajja , Samuel Mupasulo abadde akutte embuzi alumiziddwa nnyo mu maaso ng'era abadde avaamu omusaayi. Wakati mu bulumi, Kintu akaabiridde banne okumuyamba bamutwale mu ddwaaliro afune obujjanjabi.

Kintu ateekeddwa ku boodabooda emuvuze okumutwala mu ddwaaliro wadde ng'ababadde bamutwala abagambiddewo nti wadde ali mu bulumi bw'amaanyi, tebamutwala mu ddwaaliro erinaamusaba ensimbi ennyingi kuba tazirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...