
Benjamin Katana (ku kkono), Anthony Wameri , Kalule Fredrick Robert wamu ne George Musisi nga beegeyaamu oluvannyuma lwa poliisi okubalemesa okutuuka ewa Kyagulanyi.
Bya BENJAMIN SSEBAGGALA ROBERT Kyagulanyi (Bobi Wine) agambye nti obujulizi bwonna obwetaagisa babulina okugenda mu kkooti okuwakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni mu kalulu akaakaggwa.

Wabula abantu bangi ababadde bawakanya eky'okugenda mu kkooti nga bagamba nti bw'otunuulira abalamuzi ba kkooti ensukkulumu tebasobola kulamula musango mu bwenkanya ne bawa ensala ewa NUP obuwanguzi.
Newankubadde embeera eri bwetyo, Kyagulanyi yagambye nti, abakulembeze ba NUP ne bannamateeka b'ekibiina bakyalina bye beekenneenya basobole okusalawo eky'enkomeredde era bagenda kuvaayo bakyanjulire Bannayuganda mu bbanga ttono erijja.
Bino Kyagulanyi yabyogedde asinziira mu maka ge e Magere mu Wakiso ng'ayita ku mikutu gya yintaneeti omulundi ogwasoose okuva okulonda lwe kwaliwo wiiki ewedde nga January 14 kyokka Kyagulanyi agumizza abawagizi be gavumenti n'eggyako yintaneeti n'emikutu gya Social media ate naye ne bamukuumira awaka.
Okulonda okwawedde, Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangiridde Yoweri Museveni Tibuhaburwa Kaguta nti awangudde n'obululu 5,851, 037 (ebitundu 58.64 ku 100) ate Kyagulanyi yafunye obululu 3,475,298 (ebitundu 34.83 ku 100).
Wano Kyagulanyi we yasinzidde okuddamu okuwakanya ebyava mu kulonda n'ategeeza nti obujulizi abulina era bulaga bulungi nti ye yawangula kyokka obuwanguzi bwe bwakyusibwa. Yazzeemu okutegeeza nti yagenda mu kulonda ng'amanyi bulungi abantu b'akolagana nabo kyokka waakugenda mu maaso n'okulwanirira okufuna obwenkanya.
Yajulizza ebigambo bya Pulezidenti Museveni bye yakozesa ng'ayogera ku kalulu ka 1980, Obote ne Paula Muwanga bwe baakabba ne beerangirira ne yeewuunya nti ebintu bye bimu ebifaananako bwe bityo Bannayuganda bye baayiseemu mu kalulu akawedde.
Yagambye nti ebigambo bino yabisimbulizza mu kitabo Pulezidenti Museveni bye yawandiika mu kitabo kye ‘Mission to Freedom'. Kyokka yennyamidde n'ategeeza nti abawagizi be abazze bakwatibwa kati basoba mu 3,000 era n'okutuusa ku Lwokutaano baabadde tebamanyi gye bali.
Okwogera bino yasoose kusoma lukalala lw'amannya g'abamu ku bantu be be bazze bakwata okuli n'abantu be baakwatira e Kalangala. Yagambye nti be baakwata kuliko Williams Nyanzi mutabani wa mukulu we Fred Nyanzi (Chairman Nyanzi), Keny Kyalimpa yagambye nti ono emyaka 18 yagiwezezza ng'ali mu kkomera era ne David Lule Bwanika (Selector Davie) ono muliraanwa we e Magere baamukwata ebula ennaku bbiri okugenda mu kulonda n'okutuusa kati tebamanyi gy'ali.