
Fred Enanga.
Bya ERIA LUYIMBAZI POLIISI egobye abayizi 220 b'ebadde etendeka okufuuka abaserikale oluvannyuma lw'okukizuula nti tebalina bisaanyizo bijja kubafuula abaserikale abajjuvu.
Kino kiddiridde poliisi okukola okunoonyereza mu bayizi be yawandiika n'ebatwala mu ttendekero lyaayo e Kabalye -Masindi okutendekebwa oluvannyuma lw'okulaga ng'eyagala abaserikale abapya bagende okutendekebwa bafulume nga ba Probation Police Constable (PPC).
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti, oluvannyuma lw'okwekenneenya ebibakwatako, kyazuuliddwa nga waliwo embeera z'obulamu bwabwe be zitasobozesa kutendekebwa nga bano baagobye 38.
"Mu kuwandiika abaagala okufuuka abaserikale, waliwo ebisaanyizo ebirina okukkirizibwa era bwe tubatwala tusigala tubeekenneenya era bwe tuzuula nga waliwo abatatuukiriza bisaanyizo nga tubasalako," Enanga bwe yategeezezza.
Yagambye nti, era mu kunoonyerza kyazuuliddwa ng'abayizi 182 baajingirira ebiwandiiko, okutuusa emyaka egyetaagibwa ate ng'abamu baagwa okubala oba Olungereza oba ng'obubonero obwetaagisa tebaabuweza.
Yategeezezza nti obukwakkulizo obwassibwawo eri abaagala okuyingira mu poliisi tebusobola kukyusibwa wadde okuttira omuntu ku liiso ng'abo bokka abaabutuukiriza be bajja okusigala nga batendekebwa.
Yagasseeko nti era abaazuuliddwa nga balina empapula z'obuyigirize enjingirire, poliisi yatandise okubanoonyerezaako ra empapula zaabwe zaatwaliddwa ku poliisi y'e Masindi.