TOP

Ebigambo bya Bp. Kaggwa ebitagenda kwerabirwa

Added 24th January 2021

OMUSUMBA John Baptist Kaggwa abadde alumirirwa ensi ye ne Bannayuganda era bingi by’azze aluhhamya eggwanga mu ngeri ez’enjawulo ebitagenda kwerabirwa.

Abasumba Jjumba n’omugenzi Kaggwa (ku ddyo).

Abasumba Jjumba n’omugenzi Kaggwa (ku ddyo).

Bya JULIET LUKWAGO ne EMMANUEL SSEKAGGO                                                                                             OMUSUMBA John Baptist Kaggwa abadde alumirirwa ensi ye ne Bannayuganda era bingi by'azze aluhhamya eggwanga mu ngeri ez'enjawulo ebitagenda kwerabirwa.

Olw'ekirwadde kya corona okweyongera mu bantu, Omusumba Kaggwa yavaayo n'asaba Gavumenti okuteeka ebyokulonda ku bbali ekirwadde kimale okukendeera. Yabyogera ajaguza emyaka 25 ng'Omusumba nga June 16, 2020 e Kitovu Masaka.

Emmotoka za Bobi Wine ze baakubamu ttiyaggaasi e Mbale.

Lumu yasaba Gavumenti okuggya emmundu mu bantu. Yategeeza nti n'abantu okumala gattibwa n'okubalumya kweyongedde. Bino yabyogerera Kigungu mu Missa gye yakulembera ng'Eklezia ejaguza emyaka 141 kasookedde baminsani ababereberye Pere Lourdel Simeon (Mapeera) ne Brother Delmas Amansi batuuka mu nsi yaffe.

Yanokolayo ekisinze okuteeka Bannayugnda mu buzibu obulwadde bwa mukenenya n'abafere. Waliwo okubba ettaka. "Ekizibu ky'ettaka kizibu nnyo mu ggwanga omuli n'abamu okukola ebyapa eby'ekikwangala. Era yayogera ne ku ttiyaggaasi afuuyibwa mu bantu entakera ekiretedde bangi okufuna ebirwadde n'ebizibu ebitali bimu mu bulamu bwabwe.

Omusumba olumu yagamba nti tewali bwenkanya mu byobufuzi, ebiseera ebisinga wabeerawo okusika omuguwa n'oluyi oluvuganya Gavumenti. Okusanyaawo obutonde nakyo kifuuse kizibu mu ggwanga, ky'ova olaba ng'ennyanja zibooga n'amazzi okwagala okutwala abantu olw'ensonga bangi basaanyizzaawo obutonde bw'ensi.

Omusumba Kaggwa yavaayo n'asaba Gavumenti okuggyawo omusolo gwe yali etadde ku ‘mobile money' ng'omuntu aggyayo ensimbi, kye yagamba nti kizito eri abantu. Bino Omusumba Kaggwa yabyogera bwe yali awa Obusaserodooti mu Eklezia ya Our Lady of Sorrows Cathedral Kitovu e Kitovu mu 2018.

Abadde ajja akubiriza Bannayuganda okugenda okulonda omukulembeze gwe baagala kubanga buvunaayizibwa bwabwe nga bannansi okulonda omukulembeze gwe beesimidde. Yawakanya ekya Gavumenti okutandika okusomesa abaana eby'okwegatta n'omukwano. "Kino kiwakanyizibwa mu masomero gaffe aga Klezia mu ssaza ly'e Masaka, era omusomesa yenna, oba omukulu w'essomero anaasalawo okutandika enkola eyo waakugobwa mu masomero gaffe gonna, era bw'oba oyagala okugobera enkola eyo mu masomero gaffe todda", bwe yabalabula.

Yavumirira kkampuni ezimu eziwa abawala abato emirimu kyokka nga baagala kusooka kubakozesa. Kaggwa abadde avumirira ettemu erisusse e Masaka. Era buli kaseera abadde asaba abantu okusaba emirembe mu ggwanga lyonna. Ate nabo abalina emitima egy'ekko okwekuba mu mitima okulaba nga bakyawa ebikolwa ebyekko. Omuli n'okutemula abalala", yali ku mukolo gw'ababiikira e Ggogonya.

Omusumba Kaggwa buli kaseera abadde avaayo n'alabula abantu abakozesa obubi enguudo nga bavuga ekimama naddala ku luguudo lw'e Masaka. Bino Bp. Kaggwa yabyogerera mu bantu abeetaba mu misinde egya Nkozi Hospital okusonda ensimbi okuzimba waadi we batuusiza abalwadde abeetaga okukolwako mu bwangu.

Abadde buli kaseera avaayo lunnye n'akubiriza abazadde okufuba okusomesa abaana ate n'okutwala ebyenjigiriza ng'eky'omuwendo ekisingira ddala era omuzadde ky'ayinza okulekera omwana. Omusumba Kaggwa abadde asaba bulijjo abakkiriza okwongera okusabira Klezia oyongere okunywera naddala mu kiseera kino ng'abamu baagala okugyabuluzaamu. Bino Omusumba Kaggwa yabyogera ayigiriza mu kifo kya Bikira - Maria e Kiwamirembe - Kajjansi mu disitulikiti y'e Wakiso.

Yagamba: "Tulonde bulungi, mbaagaliza mulonde bulungi, ne bwe munzitira wano sifaayo kasita 25 giwedde, naye buli omu afune eddembe lye amanye ky'akola, akikole n'obuvunaanyibwa tufune obukulembeze obulungi. Omukama abeere nammwe", yali ajaguza emyaka 25 mu buweereza.

"Sipiidi abantu kwe batemulirwa mu ggwanga yeeralikiriza, okuttibwa kwa Bbulaza ono kukubye ekkonde ddene eri ekitundu era tetusobola kuleka poliisi yokka okukola omulimu guno. Tugenda kuteekawo akakiiko ak'enjawulo okunoonyereza ku ngeri entuufu omuntu waffe gye yafuddemu", mu kuziika Bro. Nobert Emmanuel Mugerwa eyali akulira bannalotale eyattibwa mu July 2019.

"Bwe tutaafune mutima gusonyiwagana tujja kweyongera okulaba ebikolwa eby'ettemu nga byeyongera mu ggwanga newankubadde ng'ebitongole okuli poliisi n'amagye biyiiriddwa mu bungi mu bantu. Tufune omutima ogusonyiwa ebikolwa eby'ettemu biggweemu mu ggwanga." "Tujaguzza emyaka 54 egy'obwetwaze ekitegeeza nti kati tukuze tulina eddembe olw'ensonga eyo Ssemateeka wa Uganda tulina okumutunuulira ng'ekyomuwendo tuleme kumukyusakyusa olw'ebigendererwa ebitayamba ggwanga" Bp. Kaggwa bwe yategeeza mu biseera bya ‘Togikwatako'.

" Ekyewuunyisa kwe kuba nti okwambala obukete kituuse ne mu Klezia. Omuntu n'ajja okusoma Mmisa ng'ayambadde akagoye kakoma mu bisambi. Tusaba Gavumenti ereete etteeka erikugira abantu okwambala era nga oyo akwatibwa asibwa oba okuwa engassi", bino yabyogera nga October 4, 2016 ku kigo ky'ekijjukizo e Lyatonde.

" Tuvumirira nnyo enkola ya poliisi etali ya bukugu naddala ey'okutyoboola obuwangwa, gwafuuka ddi omusango Kyagulanyi (Bobi Wine) okwetaba mu mukolo gw'ebyobuwanga by'ekika kye? Poliisi ky'ekoze si kikolwa kya bukugu n'akamu era kityoboola eddembe ly'abantu? Oyinza otya okukuba omukka ogubalagala mu bataka abatudde obulungi nga beesudde n'amabanga agatangira corona?", yali Mugulu ku butaka b'Abeembogo.

" Abakristu Mukozese omukisa gw'Omusumba omupya (Jjumba) okwezza obuggya mu kukkiriza kwammwe, temwenyigira mu kukola bibi omuli enguzi, obukodo n'ebikolwa eby'obuseegu kubanga bino bitta omukwano gwammwe ne Katonda", yabyogera nga July 6, 2019 mu Luttiko e Masaka bwe yali akulembeddemu omukolo ogw'okutuuza Omusumba w'e Masaka Serverus Jjumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...