
Faaza Musaala
Fr. Musaala yabadde mu missa jeyakulembedde ku Kelezia e Lubaga nayogera ku bya Minisita Esther Mbayo eyayogedde ku Banaddiini nti babadde bakunga abantu nagamba nti babaveeko.
"Waliwo minisita eyagambye nti bannaddiini babeere mu bya ddiini ebyobufuzi babiveemu naye si bwekiri. Omwoyo gubeera n'omubiri. Bw'ojja mu Klezia ojja n'omubiri gwo n'omwoyo gwe," bwatyo bweyagambye.
Yakunze Bannayuganda okubeera abamalirivu ennyo singa baba baagala eggwanga okwongera okubeera obulungi.
"Tukkirize okuyitibwa kwaffe, nga abantu abaleese enjiri ey'okusumuulwa mu byomwoyo, ebyomubiri na buli kimu kisumululwe mu Uganda yaffe. Tulina okuzuula wa Mukama w'atuyitira okuleeta Uganda empya oba nkyukakyuka ezisobola okuyamba abantu abanaatugoberera nga tuvuddewo. Gwe atudde wano Mukama akulonze, tobuusabuusa. Muleme birekera Bobi Wine oba Museveni," bwatyo bwe yagasseeko.
Missa eno yeetabiddwamu omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Edward Kiwanuka Ssekandi ne bannabyabufuzi abalala.
Musaala yagambye nti ebibadde birina okukyuka n'awa ekyokulabirako eky'abantu abaasibiddwa n'agamba nti balina okuteebwa.
"Twetaaga emirembe mu ggwanga lyaffe. Lwaki abantu basibibwa? Balina okuteebwa ate singa baba tebateereddwa, kyongera emitima emibi mu bantu abamu," bw'atyo bwe yagasseeko.
Yagambye nti buli muntu alina okuyitibwa kwe era singa aba akukozeseza bulungi, embeera esobola okutereera.
"Tolowooza nti gwe toyina ky'osobola kukola, oba oli muto oba okaddiye, oba tewasoma, osobola okubaako ky'okolera eggwanga lyo. Kizito omuto yafa wa myaka 14 kati mutuukirivu. Musa yatandika obuweereza bwe nga alina emyaka 80. Togamba nti tewasoma tolina kyomanyi. Yezu yasanga abavubi nga basanirira butimba bwabwe n'abayita. Petero eyafuuka Paapa eyasooka yasomerawo. Teweekwasa, Mukama ajja kuwa amagezi okusumulula eggwanga lyaffe," bwatyo bwe yagasseeko.
Yakunze abakatuliki obutatiirira ggwanga lyabwe naye bavengayo okuyingira mu buli nsonga esoboka nga obukulembeze.
Yagambye bannabyafuzi nti buli alina ekifo ky'awangudde alina okukolerera eggwanga naddala nga alwayinsa ebikyamu ebibaddewo nga; okulya enguzi, ekibbattaka n'ebirala.
Abakuuma ddembe yabalabudde nti bakomye ebikolwa eby'ettima ebyo naye baweereze bulungi eggwanga.
Fr. Musaala yakkaatirizza nti ensonga zonna tezirina kufuulibwa za byabufuzi naye zikwatibwe nga ez'okutwala eggwanga mu maaso.