
Omusumba Bp. Kaggwa.
Bya BENJAMIN SSEBAGGALA, PONSIANO NSIMBI NE JOHN BOSCO MULYOWA OMUSUMBA John Baptist Kaggwa eyaziikiddwa ku kigo e Bukalasa abadde n'ebitone ebyenjawulo abantu ab'enjawulo bye bamwogeddeko ebitazzikawo. Abadde ddoboozi ly'abanyigirizibwa, agatta abantu mu nzikiriza ez'enjawulo, aleeta enkulaakulana mu bitundu n'amaka era omukulembeze akulembera n'ebyokulabirako.
Bp. Kaggwa entaana ye yazimbiddwa mu Klezia munda eri ku limbo e Bukalasa we baziika Bafaaza. Mulimu entaana ze baasimba ne bazimba eziwerako, okuli mwe baaziika Abasumba Henry Ssentongo ne Paulo Kalanda. Omugenzi abadde omusumba w'essaza ly'e Masaka eyawummula nga yafudde bulwadde bwa Corona ku Lwokusatu.
Yafi iridde ku myaka 77 mu ddwaaliro ekkulu e Mulago era we yawummulidde nga mu June w'omwaka oguwedde 2020, yajaguzizza emyaka 25 nga Musumba. Engeri gye yayingiramu obuweereza bwa Klezia okusinziira ku mugandawe Francis Wamala gwe yakula naye mu maka ga bakadde baabwe e Bulenga yabyewuunyo.
Wamala yategeezezza nti okuva nga bato, bwe baagendanga mu mmisa e Ssumbwe ne bazadde baabwe ku Ssande nga Kaggwa yeetegereza nnyo Faaza buli ky'akola n'engeri gy'ayambalamu ebyambalo. Bwe baddanga eka ng'agenda mu lusuku n'asala ebyayi n'abikolamu ‘kkoola' Bafaaza gye bambala olwo n'afuna ekifo ekisobola okukola nga alutaali n'abasomera emmisa ng'abasembeza obummonde bw'asaze nga ositiiya.

Ebirungi ku Kaggwa tebyakoma kulabibwa baluganda lwe bokka n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo bamwogeddeko: Omulabirizi wa West Buganda Rt. Rev. Henry Katumba Tamale yagambye nti Omusumba Kaggwa ng'akyakulira Ggaba Seminary naye (Katumba) yali Kawuku kyokka baagenda okumulonda okugenda e Kako ate ne basisinkanayo.
"Tuleme kwekubagiza ng'abatalina ssuubi, omukulu oyo omulimu gwe agukoze, enkulaakulana agireese n'okugatta abantu tubadde tutambuza ffenna ekkubo ly'Omusaalaba. Mbasaba omusaalaba gwa kristo gwe yakoleeza nammwe mukoleezeeko gusobole okusigala nga gwaka" Omulabirizi Katumba bwe yaggumizza.

Omusumba Rt. Rev. Sereverus Jjumba eyadda mu bigere bya Kaggwa ng'awummudde mu 2018, yasiimye abo ababadduukiridde n'asaba Abakristu okwongera okubasabira. Francis Katabaazi Omubaka omulonde wa Kalungu East; Omusumba Kaggwa abadde omugunjuzi era omukozi ennyo akyusizza endowooza n'embeer za Bannamasaka.
Nze nga ssentebe w'abaasomerako mu sseminaaliyo e Bukalasa mwenyumirizamu. Richard Ssebamala omubaka omulonde owa Bukoto Central; Omusumba Kaggwa y'omu ku bantu abanjagazisa ebyobufuzi. Abadde ddoboozi ly'abatalina baboogerera naddala ku nsonga ezinyigiriza omuntu waabulijjo, omwetowaze ate ayagala ennyo abantu awatali kusosola mu mawanga oba ddiini.
Omubeezi w'Omusumba w'essaza ly'e Masaka Msgr. Dominic Ssengooba bwe yabadde ayigiriza mu lutikko e Kitovu yagambye nti Kaggwa abadde mwetowaaze, ow'ekisa, omugumiikiriza, omukozi ate nga yeewaayo n'okwagala buli muntu awatali kusosola.

SSABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi nti bw'abeera waakugonjoola ensonga ezaagaanye abantu ba Buganda okulonda aba NRM, abawe Federo buli kitundu kyekolere ku nsonga zaakyo nga bwekiri mu massaza g'Eklezia Katolika.
Yasoose kwogera ku mugenzi Omusumba Kaggwa n'ategeeza nti abadde ddoboozi ly'abantu abanyigirizibwa era nga buli kimu akyogera mu mazima nga bwe kiri kyokka ng'abyogera mu bukkakkamu mu ddoboozi lyennyini ly'abadde akozesa okubunyisa evvanjiri.
Yasabye Museveni nti okukulembeza Federo ya East Africa yandisoose kulowooza ku ya Uganda ng'emu ku ngeri y'okumalawo embeera y'obusosoze mu mawanga gyagamba nti etabudde nnyo abantu ne badda mu kunenengana.
Yabadde mu mmisa y'okusabira omwoyo gw'Omusumba Kaggwa e Lubaga n'akuutira abakulembeze naddala abavuganyizza ku bwapulezidenti mu kalulu akaakaggwa basonyiwagane era bakkaanye bave mu kuvumagana.

Omumyuka wa pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi yatenderezza omugenzi Bp. Kaggwa olw'eddimo eddene ly'alese akoze mu ssaza ly'e Masaka okuli okukulaakulanya abantu ba ng'ayita mu kitongole kya MADDO, okuyamba abavubuka n'okutumbula ebyobulamu.

Evaresto Kayondo, ssentebe wa Bannamasaka abakolera mu Kampala era ssentebe w'ekibiina ky'abasuubuzi ekya KACITA: Eklezia, e iriddwa naye Bannamasaka tu iriddwa nnyo omusumba omulungi akoze ennyo okutugatta n'okutukubiriza okwenyigira mu mirimu egy'enkulaakulana.
Azimbye ekifo kya e e Nsambya ekya Bishop Ddungu Gardens ssaako ekizimbe kya Bannamasaka eky'emyaliiriro omusanvu mu kibuga wakati omuva ensimbi eziyambako okuddukanya emirimu gy'essaza ly'e Masaka.

Godfrey Kirumira ssentebe w'abagagga ba Kwagalana; Nasinga okutegeera omusumba Kaggwa nga ndi ku kakiiko akateekateeka emikolo gy'okutuuza omusumba Severus Jjumba eyamuddira mu bigere. Abadde omukulembeze ategulumiza, awuliriza ate assa mu bantu ekitiibwa.