TOP

Mmotoka eremeredde omukazi n'egwa mu luwonko

Added 24th January 2021

Mmotoka ya buyonjo ewabye ku mugoba waayo n’egwa ne yeefuula okukkakkana ng’egudde mu kiwonko. Eno gyesanze omuti gwetomedde n’esibira awo abadduukirize we bamusanze ne bamutaasa. (Ebif. Bya Mukasa Kivumbi).

Omuserikale n'omusajja omulala nga bayamba omukazi.

Omuserikale n'omusajja omulala nga bayamba omukazi.

Bya Mukasa Kivumbi

Mmotoka ya buyonjo ewabye ku mugoba waayo n'egwa ne yeefuula okukkakkana ng'egudde mu kiwonko. Eno gyesanze omuti gwetomedde n'esibira awo abadduukirize we bamusanze ne bamutaasa. (Ebif. Bya Mukasa Kivumbi).

Abadduukirize nga beetoolodde mmotoka eyagudde.

Mmotoka eno ey'ekika kya Rav 4 ebaddemu omukyala kyokka abadduukirize bwe babadde bamuyamba okumuggyamu asoose kugaaniramu ng'atya okumubbako ensawo ye erabika ng'ebaddemu ssente era obwedda aginywezezza mu bulumi.

Omukazi ng'ayambadde ensawo gye yabadde atya abantu okumubbako.

Wabula poliisi olutuuse n'akkiriza okuvaayo ne bamutwala mu ddwaaliro ly'e Kawolo okufuna obujjanjabi. Akabenje kano kagudde ku Kabuga k'e Kitege mu kikko okuliraana kasasiro ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.

Abantu abaasoose okutuukawo okumuyamba n'agaanira mu mmotoka bagambye nti kirabika omukyala ono abadde ne ssente nnyingi mu nsawo ye ekyamutiisizza nti abantu bayinza okuzimubbako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...