
Omubaka Sserubula ne mukyala we nga babasabira.
Bya Mukasa Kivumbi
SSAABADINKONI w'obusaabadinkoni bwa Lugazi, Canon George William Kityo agumizza abeetabye mu kalulu ne babawangula obutakitwala bubi n'agamba nti akalulu kalamula ab'amaanyi era abo abaayiseemu be baamaanyi mu kiseera kino.

Kyokka alabudde abaayiseemu obuteetwala ng'ab'ekitalo kuba obuweereza bwa kiseera n'asaba buli ayiseemu atuukirize obweyamo olwo abantu babalamule bulungi.
Bino Ssaabadinkoni Kityo abyogeredde mu Kkanisa ya St. Peters Lugazi Town Church, Stephen Sserubula omubaka eyaakalondebwa okukiikirira aba Lugazi Municipality bw'abadde agenze okwebaza Katonda olw'ekyo kye yamutuusizzaako
Asabye Sserubula obuweereza bwe okubukwasa Katonda ate akkirize okubuulirirwa kw'abakulembeze n'abo abamuli okumpi obuweereza bw'atuseeko bulyoke bumwanguyire.
Serubula abadde ne ffamire ye yeebazizza Mukama Katonda olw'ebirungi byamutuusizzaako n'asiima n'Abakrisitaayo abamubeereddewo n'okumusabira ng'anoonya akalulu kubanga n'olumu baamukwata ne bamusibira mu kkomera. Yeeyamye okubaweereza obulungi.
Oluvannyuma Ssaabadinkoni asabye abantu b'e Lugazi okulonda obulungi abantu abatagenda kubajuza, okubalimira enguudo embi omuli n'olugenda ku kkanisa.