TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujaasi wa UPDF ali mu maziga: Bamukoonedde enju n'okumubbako obukadde 17

Omujaasi wa UPDF ali mu maziga: Bamukoonedde enju n'okumubbako obukadde 17

Added 24th January 2021

OMUJAASI wa UPDF ali mu maziga. Nnannyini ttaka amukoonedde ennyumba n’egwa ku ttaka ng’agamba nti tamwagala ku ttaka lye.

Omujaasi Namutebi ku nnyumba ye gye baakoonye.

Omujaasi Namutebi ku nnyumba ye gye baakoonye.

Bya Wasswa B Ssentongo

OMUJAASI wa UPDF ali mu maziga. Nnannyini ttaka amukoonedde ennyumba n'egwa ku ttaka ng'agamba nti tamwagala ku ttaka lye.

Carol Namutebi omutuuze ku kyalo ky'e Jokolera mu Ggombolola y'e Nangabo mu disitulikiti y'e Wakiso yaagudde ku kyokya oluvannyuma lwa nnannyini ttaka Edward Tukasibwe okumumenyera ennyumba ng'agamba nti ku ttaka lye tayagalako muntu yenna.

Abakuumi ba Securiko nga bateereddwa ku maka ga Tukasibwe eyakoonye ennyumba ya Namutebi.

Namutebi bagenze okumumenyera ennyumba ye abadde taliiwo ng'ali mu nkambi y'amagye e Kakiri. Tukasibwe olumaze okumenya ennyumba n'agezaako okudduka kyokka poliisi n'emukwata.

Bba wa Namutebi, Francis Nsubuga yategeezezza ng'abatuuze bwe baamukubidde essimu ne bamutegeeza ng'ennyumba yaabwe bwe bagikoonye. Agambye nti atuuse kikeerezi ng'ebintu ebimu bibbiddwa wamu ne ssente obukadde 17 ze babadde bagenda okweyambisa okuzimba emizigo.

Kati baagala Tukasibwe abasasule ssente zaabwe n'ebintu ebyabbiddwa wamu n'okuzzaawo ennyumba yaabwe mu bwangu.  Abatuuze abalala okuli: Mayimuuna Ndagire baategeezezza nti Tukasibwe yakajja ku kyalo kino kyokka ayitirizza okubatulugunya ne basaba aboobuyinza okubamutaasaako.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nga Tukasibwe bwe yakwatiddwa era akuumirwa mu kaduukulu ka poliisi ng'agguddwaako omusango gw'okwonoona ebintu wamu n'okubba ssente ng'essaawa yonna waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...