
Bisaka
Bya JOSEPH MAKUMBI NE ISMAEL KASOOHA
Abaagala emikisa, okubagobako endwadde n'ebyokoola, baakufukamira nga wansi w'endabirwamu omuli omulambo gwe basabe bye baagala era abagoberezi baabamatizza nti, buli kye baanasaba kijja kutuukirira.
Abakulira enzikiriza ya Unity of Faith Movement baategeezezza nti, omulambo gwa Bisaka bagenda kugukaza bagutereke mu kifo abagoberezi we basobola okugulabira.
Baagambye nti, tagenda kuziikibwa ng'abantu abalala era akulira eby'amawulire Omukwenda Turyamureeba yagambye nti kino baakikoze okusigaza ebyafaayo ku mutandisi w'enzikiriza yabwe.
Omulambo gwa Bisaka gwakomezeddwawo mu ggwanga eggulo okuva e Nairobi mu Kenya mu ddwaliro lya Agha Khan gye yafiiridde nga January 14, 2020.
Bisaka kigambibwa nti, yatwalibwa ne bakyala be bana e Kenya oluvannyuma lw'okusooka okujjanjabirwa e Nakasero obulwadde ne bugaana. Kigambibwa nti, yafudde Corona.
Okuva ku kisaawe e Ntebe we gwatuukidde, gwateekeddwa mu nnyonyi y'amagye ne gutwalibwa e Kapyemi abakulira enzikiriza n'aba ffamire gye baabadde bagulidde.
GAVUMENTI Y'EGENDA OKUKOLA KU BY'OKUZIIKA;
Oluvannyuma lw'abakulira enzikiriza ya Bisaka ne ffamire okufulumya ekiwandiiko ekyateekeddwako emikono ogwa Mukwenda Mitooro mutabani wa Bisaka ne Mukwenda Mugisa akulira akakiiko akawabuzi nga bakakasa okufa kwa mukama waabwe ku Lwomukaaga, enteekateeka z'okuziika zaayongeddwamu amaanyi.
Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda, yafulumizza ekiwandiiko n'ategeeza nti, baatudde mu lukiiko n'aba ffamire ya Bisaka n'abamu ku bakulembeze b'enzikiriza ye ku Lwokutaano nga January 22 ne bakkiriziganya nti, aterekebwe nga January 31.
Kino, kitegeeza nti, Bisaka wa kumala ku nsi nga tanakazibwa kuterekebwa enaku 17.
Rugunda yagambye nti, Pulezidenti Museveni yabadde ategedde ku mawulire g'okufa kwa Bisaka era akungubagira wamu n'aba ffamire n'agamba nti, Gavumenti yasazeewo okukola ku nteekateeka z'okutereka omulambo gwa Bisaka.
Wabula, okutuuka ku kigenda okukolebwa ku mulambo, ensonda zigamba wabaddewo okusika omuguwa wakati w'aba ffamire, ab'enzikiriza n'abakungu ba Gavumenti abaabadde bagamba nti, tebayinza kukkiriza mulambo gwa muntu afudde bulwadde bwa Corona kuterekebwa nga buli ayagadde asobola okumulabako.
Mu bbaluwa ya Katikkiro, yagambye nti, Pulezidenti Museveni yasabye abagoberezi n'aba ffamire okwerinda obulwadde bwa Corona nga basiibula omuntu wabwe ate n'abakuutira okubeera abagumu.
Ensonda mu nzikiriza ya Owobusobozi e Kapyemi Muhorro mu disitulikiti y'e Kagadi zaategeezezza nti, Bisaka abadde muwagizi wa Museveni lukulwe era yakoze kinene nnyo okukunga abagoberezi be okuwagira Museveni mu kalulu akaakaggwa.
"Lwakuba waliwo obulwadde bwa Corona, naye Pulezidenti yandibadde aberawo ne mu kuziika mukwano gwe, babadde ba mukwano ffa nfe era yakoze kinene nnyo mu buwanguzi bwe." Ensonda e Kapyemi bwe zaategeezezza.
Zagasseeko nti, gavumenti okusalawo okukola ku by'okumusiibula byonna, y'engeri yokka gye yabadde asobola okusiimibwa.
YAMANYA OKUFA KWE N'AWABULA ABASIGADDEWO;
Bisaka wadde abadde yeyita ‘katonda' abadde akimanyi nti olunaku lulikya n'ava mu bulamu bw'ensi.
Mu kitabo kye ‘The Book of God of the Age of Oneness' yategeeza nti, abantu abaatandika enzikiriza endala zonna mu nsi baafa dda naye ezikiriza ne zisigala nga zikyagenda mu maaso era n'eyiye bw'alivaawo, ejja kusigalawo.
Omu ku baddukanya enzikiriza yagambye nti, Bisaka yalese akoze enteekateeka namutayiika etwala enzikiriza mu maaso. Yagambye nti, baalonze Omukwenda Arinaitwe okutwala enzikiriza mu maaso ate buli Itambiro okwetoloola eggwanga n'ebweru wa Uganda, waliyo Omukwenda alikulira era abagenda okusigala nga batwala enzikiriza mu maaso.