TOP

Omusaala ogulindiridde aba LC5 ne bakkansala

Added 24th January 2021

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Bya MARGARET ZALWANGO
OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku disitulikiti n'ebibuga okwabaddewo ku Lwokusatu kugenze okukomekkerezebwa ng'abantu abawerera ddala bagudde mu bifo.
Erias Lukwago (ku kkono) Loodi meeya wa Kampala.
Bano kati balinze okukubwa mu katabo ka Gavumenti akatongole aka Uganda Gazette n'oluvannyuma balayizibwe mu June 2021 batandike okukakkalabya emirimu. Bassentebe ne bammeeya ba Cities wamu ne bakkansala baabwe beegasse ku babaka ba Palamenti abaalondeddwa ne Pulezidenti mu kalulu aka nga January 14, 2021. Palamenti empya egenda okulayizibwa mu May 2021 esuubirwa okubaamu ababaka 529.
Okulonda okuddako kwa kubaawo ku Mmande nga January 25, 2021 nga kugenda kubeera ku mutendera gwa bammeeya aba Munisipaali ne bammeeya ba Divizoni za Cities ne bakkansala baabwe. Bassentebe b'amagombolola, bassentebe ba Divizoni za Munisipaali ne bassentebe ba Town Council wamu ne bakkansala baabwe kwa kubaawo nga Febuary 3, 2021.
Okulonda kuno kutegeeza nti ensaasaanya ya Gavumenti mu kuddukanya emirimu gyayo egenda kweyongera kinene olw'obungi bw'abakulembeze abeeyongedde. Mu bajeti ey'omwaka gw'ebyensimbi 2020/2021, Gavumenti yatadde bbiriyooni 5,103 n'obukadde 470 nga zino zaakusasula misaala gyonna egy'abakozi ba Gavumenyti nga ssente ezo zeeyongeddemu bbiriyooni 430 n'obukadde 52 okuva ku nsimbi Gavumenti ze yasaasaanya ku misaala mu bajeti ya 2019/2020.
Okusinziira ku kiwandiiko ekya Minisitule y'ebyensimbi omuli enteekateeka ku by'ensimbi ekya National Budget Framework Paper (NBFP), ensimbi ez'okusaasaanya ku misaala gy'abakozi zisuubirwa okutuuka mu bbiriyooni 6,000 mu mwaka gw'ensimbi 2021/2022.
Matia Lwanga Bwanika ssentebe wa Wakiso.
ABAWANGUZI BEESUNGA MISAALA EMISAVA
Abaawangude ebifo ku mitendera egy'enjawulo beesunga kulayizibwa batandike okusasulwa emisaala, ensako n'ebirala ebigendera ku bifo byabwe basobole okuweereza abantu abaabalonze.
Bangi ku baawangudde mu kiseera kino bali mu mabanja olw'ensimbi ennyingi ze baatadde mu kalulu era bangi beewola nga balina essuubi nti gye balwanirira bagenda ku mulimu ogutaliiko kutaataaganya okumala emyaka etaano ng'ensimbi ziyingirawo ez'amakubo amatuufu n'eza ddiiru.
Tutunuulidde emisaala gya bakkansala, bammeeya, basipiika ne bassentebe ba disitulikiti.
Emmanuel Sserunjogi ow'e Kawempe.
AB'OMU KAMPALA BASASULWA BULUNGI
Loodi mmeeya wa Kampala:
Okusinziira ku kkansala Ismail Ddamba Kisuze kkansala akiikirira Lubaga III ku lukiiko lwa KCCA, Loodi Mmeeya asasulwa obukadde 24 omwezi, nga zino kuliko omusolo. Aweebwa obukadde bubiri buli wiiki okukola ku mirimu gya ofiisi, akakadde kamu okugula ebyokulya by'abagenyi buli mwezi awamu n'obukadde 20 buli mwaka z'alina okugabira abantu abalina ebizibu.
Bakkansala abaliyo mu kiseera kino basasulwa 5,550,000/- omwezi kyokka bwe baggyako omusolo ne basigaza 3,550,000/-. Kuno kwe bagatta ensako eya buli lutuula ya mitwalo 30 nga bwe baziggyako omusolo basigaza 205,000/-.
Omumyuka wa loodi mmeeya. Ono alondebwa loodi mmeeya okuva mu bakkansala abakiika ku City Hall. Loodi mmeeya bw'amulonda ono afuna obukadde 16 nga tekunnaggyibwako musolo nga naye bamuweerako, airtime, obujjanjabai n'ebirala.
Sipiika wa KCCA: Bakkansala abakiika ku City Hall bwe mala okulondebwa ne batuula, okusinziira ku tteeka lya KCCA erya 2020, mu bano balondamu sipiika wa KCCA. Omubaka omulonde owa Lubaga North, Abubaker Kawalya ye yasooka okulondebwa mu kifo kino era nga y'akyaliko okutuusa nga balonze omulala. Sipiika afuna obukadde 13 n'emitwalo 80 ssaako 2,600,000/- ez'ensako, 2,100,000/- ez'ennyumba oba aw'okusula, 182,000/- eza airtime, n'endala 230,000/- ez'obujjanjabi.
Basipiika ba munisipaali bafuna 9,800,000/- ate abamyuka baabwe n'abawandiisi ne bafuna 7,500,000/-.
Omumyuka wa sipiika wa KCCA afuna obukadde 11, ensako 2,500,000/-, airtime 144,000/- ez'obujjanjabi 233,000/-. Loodi Mmeeya bamuwa emmotoka ne ddereeva n'okugirabirira.
Bakkansala 51 abakiika ku lukiiko lwa KCCA ku bano kubaako 44 abalonde obutereevu ssaako abalala abakiikirira abantu ab'enjawulo okuli abalema, abakadde, abavubuka n'abalala.
Kibirango ssentebe w'e Luweero omulonde.
BAMMEEYA B'AMAGOMBOLOLA
Ebiwandiiko biraga nti bammeeya abatwala amagombolola oba munisipaali ezikola Kampala bafuna obukadde 13 ne basigazaawo 8,700,000/- ng'emisolo givuddeko. Ate bakkansala ku magombolola gano basasulwa obukadde 4 ne basigazaawo 2,800,000/- ng'omusolo guvuddeko.
Mmeeya w'e Kawempe Emmanuel Serunjogi ow'eddembe yategeezezza nti ssente bakkansala ze bafuna ziyinza okukyukamu bw'ogeraageranya n'omuwendo gwabwe. Yagambye nti mu kiseera kino abaalondeddwa bagenda mu 87 omuwendo ogulabika nti munene.
Nyanjula omumyuka wa Sipiika wa KCCA.
Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bakansala ku munisipaali bafuna 1,200,000/- nga bw'oggyako omusolo zisigala emitwalo 77 buli lutuula. Bano batuula omulundi gumu mu myezi esatu. Yayongedde nti bammeeya ku munisipaali ezeesudde Kampala bafuna 1,100,000 omwezi. Bbo bakkansala abakiika ku disitulikiti bafuna ssente ntonoko.
Bafuna eziri wakati w'emitwalo 35 ne 40 buli lutuula.
Ekireeta enjawulo lwa nsonga nti ensako ya bakkansala erina kuva ku misolo egikuhhaanyizibwa nga tegisussa bitundu 20 ku buli 100. Weesanga ng'emisolo egisinga gikuhhaanyizibwa mu munisipaali olwo disitulikiti n'ebeera ng'enkuhhanya mu bitundu by'ebyalo awatava misolo giwera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...