TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaalondeddwa ku bubaka mu Mubende balaze bye basookerako

Abaalondeddwa ku bubaka mu Mubende balaze bye basookerako

Added 24th January 2021

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende balaze bye bagenda okussaako essira nga batandise okuweereza.

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Bya SOFIA NALULE                                                                                                                                              ABAAWANGUDDE ebifo by'ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez'enjawulo mu Disitulikiti y'e Mubende balaze bye bagenda okussaako essira nga batandise okuweereza.

Ababaka abalonde kuliko David Kabanda (Kasambya), Williams Ndooli Museveni (Buweekula South), Pascal Mbabazi (Buweekula), Haji Bashir Ssempa Lubega (Mubende Municipality) ne Hope Grania Nakazibwe (omubaka omukazi owa disitulikiti).

Kuno kwegattiddwaako ne ssentebe wa disitulikiti eyalondeddwa nga wa NRM, Micheal Muhereza Ntambi. Mu lukiiko olwatudde ku Joyce Hotel e Mubendce nga lwetabiddwaamu Muhereza, Kabanda ne Haji Bashir Sempa, ezimu ku nsonga ze bajja okutandikirako mwe muli okugonjoola enkaayana z'ettaka wakati w'abeebibanja ne bannannyini ttaka.

Baagambye nti balina okutuuza abeebibanja ne bannannyini ttaka okulaba bwe bamalawo okusika omuguwa n'okugobaganyizibwa. Ensonga endala ya kukola ku bavubuka nga babafunira bye bakola ne bawa eky'okulabirako ky'abalina ebitone nti beetaaga okukwasizaako basobole okweyimirizaawo.

Kabanda yawadde ezimu ku nsonga ezaasudde aba NRM mu disitulikiti endala n'agamba nti baalemwa okuyamba mu kukulaakulanya abatuuze, okukolera abantu enguudo, okutumbula ebyobulamu n'ebyenjigiriza.

Yagambye nti NRM yawangudde n'ebifo bya bakansala 38 ku 42 abalina okutuula mu kanso n'ategeeza nti kino kibawa enkizo okuteesa obulungi ku binaayamba disitulikiti. Haji Bashir Sempa Lubega eyalondeddwa ku ky'omubaka wa Munisipaali y'e Mubende yalabudde ab'e Mubende okukomya okusosolagana mu mawanga, ekibiina kisigaze obuwanguzi mu disitulikiti nga bwe baafunye.

Yagambye nti abavubuka tebafiiriddwako ne beeyunira ebibiina ebivuganya gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Metropolitan Jonah Lwanga ( ku ddyo) ng’ayanjulira abakkiriza Dikoni Cornelius Gulere.

Mwongere amaanyi mu kulyowa...

SSAABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi, Metropolitan Jonah Lwanga asabye Bakabona okwongera amaanyi mu kulyowa emyoyo...

Migadde eyabbiddwa ng’aliko by’annyonnyola poliisi.

Ababbi banyaze amaduuka e K...

ABANTU abatannategeerekeka balumbye abatuuze b’e Kisozi e Buddo mu Town Council y’e Kyengera ne banyaga bya bukadde....

Abby Walusimbi ng'akwasibwa engule ya Pulezidenti Museveni eggulo.

Museveni bamuwadde engule ...

BANNAMAKOLERO okuva mu mawanga ga Afrika ababeera mu Amerika bawadde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni engule....

Abooluganda n'emikwano nga bali mu lukiiko mu maka g'omugenzi Kasango.

Nnamwandu asinzizza amaanyi...

Ffamire ya Bob Kasango, eyafiiridde mu kkomera e Luzira, baatuuzizza enkiiko eziwerako nga balemeddwa okukkaanya...

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...