
Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.
Bya JOANITA NAKATTE ABADDE omubaka wa pulezidenti owa disitulikiti y'e Butebo, Fatuma Ndisaba akwasiddwa ofiisi mu butongole ng'omubaka wa pulezidenti owa disitulikiti y'e Mukono n'asuubiza okukola ku bizibu bya Bannamukono awatali kyekubiira wadde okwawula mu bibiina.
Abadde RDC, Fred Bamwine eyasindikiddwa okukiikirira pulezidenti mu disitulikiti y'e Masaka, ye yakwasizza Ndisaba obuvunaanyizibwa bw'okubeera RDC era ssentebe w'olukiiko lw'ebyokwerinda ku mukolo ogwabadde gutegekeddwa ku kitebe kya ofiisi y'obwa RDC.
Ndisaba yasuubizza okusooka okuzza obuggya enkolagana y'abantu b'e Mukono n'ekibiina kya NRM erabika okuba ng'eserebye ekyavuddeko n'ekibiina kino okufiirwa abakulembeze abasinga aba NRM mu disitulikiti eno.
Ono oluvannyuma Bamwine yamukwasizza konsitityusoni y'eggwanga, manifesto ya pulezidenti Museveni eggwaako mu May n'empya, bendera ya Uganda, sitampu n'ebirala ebigenda okumuyambako okukola emirimu gye obulungi.