TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo etabuse ne St Lawrence University ku mwala oguyiwa amazzi mu nnyanja ya Kabaka

Mmengo etabuse ne St Lawrence University ku mwala oguyiwa amazzi mu nnyanja ya Kabaka

Added 25th January 2021

OBUTAKKANYA bubaluseewo wakati wa Mmengo ne St.Lawrence Yunivasite ng'entabwe eva ku mwala oguva ku ttendekero lino oguyiwa kazambi mu nnyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu Kampala.
Ku Lwomukaaga January 23, 2021 Minisita w'ennono,obuwangwa n'obulambuzi ng'ali wamu n'olukiiko olutwala eby'obulambuzi mu Buganda oluyitibwa Buganda Heritage & Tourism Board,balambudde emirimu egikolebwa mu kifo kino era beewunyiza bwebasanze nga bazimbi b'ettendekero lino bazimba omwala ogyiwa amazzi mu nnyanja butereevu.
"Temusobola kutandika kuzimba mwala guno nga temulina nteekateeka esengejja mazzi agayingira obutereevu mu nnyanja. Yonna mugirabe ejjuddemu amazzi amacaafu ne kasasiro ekintu kyetutagenda kugumikkiriza," Minisita Kyewalabye Male bweyategezezza omuzimbi eyakulembeddemu banne ku mulimu guno.
Kyewalabye yalagidde bano basooke bakomye okuzimba okutuusa ng'enjuuyi zombi zizzeemu okutuula awamu n'abakugu ku njuuyi zombi okufuna engeri amazzi agayingira mu nnyanja bweganakwatibwamu,okugiyingira nga mayonjo.
Mu kiseera kino Obwakabaka bwatandika ku mulimu gw'okukulakulanya ennyanja eno okugituusa ku mutindo gw'ekyobulambuzi eky'omuwendo era ng'oggyeeko omwala guno,omulimu guno gulina okusomoozebwa kw'abooleza emmotoka mu kifo kino nga nakyo kyongera ku mbeera egiteeka mu bulabe.
Bano basoose kulambula ebifo ebirala ebisangibwa mu kitundu ky'e Mmengo okuli Bulange awali ekisenge ky'Olukiiko lwa Buganda n'edduuka ly'ebyobulambuzi,Oluguudo Kabakanjagala okuli ebibumbe by'ebika by'Abaganda,enju ya Zakaliya Kisingiri omu ku baakuza Ssekabaka Daudi Chwa II,Enju Basiima-eyogerwako ng'awazaalibwa Ssekabaka Chwa II wamu n'amaka ga Katikkiro wa Buganda amatongole,Butikkiro.
Batuseeko mu Lubiri e Mmengo mwebalambulidde ebifo okuli empuku eyasimibwa Idi Amin eyaliko Pulezidenti nga yeyambisibwanga okuttiramu abantu wamu n'ekifo ekiyitibwa Mutebi Collections-omuli kalonda yenna akwata ku Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
"Buganda erina eby'obulambuzi ntoko kati ng'Obwakabaka twayagadde bboodi eno empya ey'ebyobulambuzi eyatongozebwa nga January 5,2021,esooke okumanya ebyo byetulina wano okumpi wano nga webanatandikira okulaba bwebakulanya eby'obulambuzi byetulina," Kyewalabye bweyagambye.
Bboodi eno ekulirwa Benon Ntambi yategezezza nga kino bwekibakoze obulungi era kigeda kubayamba mu ntambuza y'obukiiko obwenjawulo bwebataddewo okuli ak'ebyensimbi,akatunzi n'obulala bwatyo n'asaba abantu ba Buganda okwenyigira mu kukuuma ebyobulambuzi ebiri mu bitundu byaabwe wamu n'okwetanira okubirambula.
Abalala ku lukiiko luno kuliko;- Victoria Kayaga Kiggundu nga yamyuka Ssentebe. Abalala ye Benon Mugumya owa Swangz Avenue, Marvin Paul Ssebugwawo,John Kitenda,Farouk Busulwa,Dr.Patrick Sserunjogi,Richard Mujjuzi ne Annet Nakawunde akulira Finance Trust Bank ate Carol Nnalinya akulira emirimu mu BHTB ye muwandiisi waalwo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...