TOP

Ssebo kolagana bulungi n'abantu okuwangula

Added 25th January 2021

ABADDE omumyuka wa RDC mu Disitulikiti y'e Kalungu Hajjati Sarah Nannyanzi awaddeyo woofiisi eri Abel Bakunda amuddidde mu bigere wakati mu kumukuutira okukolagana obulungi n'abantu b'ekitundu kino asobole okutuukiriza ebigendererwa bya mukama waabwe Pulezidenti Museveni omuli n'abatuuze okwenyumiriza mu nsi yaabwe.

Hajjati Sarah Nannyanzi (ku kkono), Abel Bakunda amudidde mu bigere ne RDC w'e Kalungu, Caleb Tukaikiriza.RDC

Hajjat Nannyanzi yayatikiridde nnyo mu bikwekweto by'okukwasisa abantu ebiragiro by'okwewala ssennyiga omukambwe owa Covid 19, ekibadde kimuwadde obuganzi n'etuttumu naddala mu bitundu bya Lukaya ne Bukulula.

Abalala ababaddewo ng'asiibula ekitundu kino okwolekera ebizinga by'e Ssese mu Kalangala kubaddeko Meeya wa Lukaya, Gerald Ssennyondo,Town Clerk Anna Mildred Nalulyo, adduumira poliisi Vianney Birungi ne RDC Paasita Caleb Tukaikiriza amusiimye olw'ebbanga ly'awerezza naye obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...