
Lumu eyakubiddwa.
JOE Lumu avuganya ku bwakansala bw'omuluka gwa Makerere 1 e Kawempe bamukubye ne bamwasa emimwa n'okumunyagako ssente n'essimu ye. Ono agamba nti kirabika banne baavuganya nabo be baamupangidde akabinja k'abavubuka abaamukubye nga bamulanga okugabira abantu ssente.

Lumu okumukuba yabadde alina empapula zaatwalira bagenti be mu Mini Triangle zooni abavubuka gye baamukubidde ne bamusuula mu mwala ne bamubbako essimu y'ekika kya nifinx n'emitwalo 30.
Ono yafunye ebisago mu maaso, ku ngalo wamu n'okukosebwa omubiri gwonna. Waliwo abaamuyambye ne bamutwala ku poliisi y'oku Kaleerwe naggulawo omusango oguli ku fayiro nnamba: SD REF:13/25/01/2021.
Moses Kigozi ssentebe wa Mini Triangle zooni yategeezezza nti waliwo ekibinja ky'abavubuka ekiyitibwa EGGAALI obwedda ekigenda kitambula nga kikuba abantu n'okubabba nga Lumu be yaguddemu kyokka by'agamba nti baavuganya nabo be baamulukidde olukwe okumukuba birabika si bituufu.