TOP

NUP yeeriisizza nkuuli e Luweero

Added 25th January 2021

EKIBIINA kya NUP kyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa gavumenti ez’ebitundu mu kitundu ky’e Luweero nga ku bwa Ssentebe bwa disitulikiti Erastus Kibirango ye yawangudde ne bakansala abasukka 10.

Abantu nga basitudde Kibirango eyawangudde obwassentebe.

Abantu nga basitudde Kibirango eyawangudde obwassentebe.

EKIBIINA kya NUP kyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa gavumenti ez'ebitundu mu kitundu ky'e Luweero nga ku bwa Ssentebe bwa disitulikiti Erastus Kibirango ye yawangudde ne bakansala abasukka 10. (Ebif. Bya Dickson Kulumba)

Abdul Mazinga.

Kibirango yawangudde banne bataano n'obululu 44,206 n'addirirwa Uthman Jjuko Kamoga owa NRM n'obululu 17,094.

Vicent Kalumba Ssebayigga Ggoli (IND) yafunye 6,696, Daniel Sserubidde Semakula nga ye Ssentebe w'eggombolola y'e Kalagala n'afuna obululu 3,800 n'abalala ne bagoberera.

Edward Zziwa yawangudde.

Bino byarangiriddwa akulira okulonda mu disitulikiti y'e Luweero, Nathan Naabasa ku Lwokutaano. Kibirango yeebazizza Bannaluweero okumussaamu obwesige n'asuubiza okukola ku bizibu by'ekitundu.

Kibirango yategeezezza nti e Luweero enguudo mbi,ekibba ttaka kisusse, abalimi n'abalunzi tebayambiddwa kimala nga kirabika kye kibaleetedde okwagala okufuna ku bukulembeze obupya.

Abamu ku bakansala we baalangiriridde abawanguzi.

Abantu nga bwe baalonze:

Ssentebe wa disitulikiti : Erastus Kibirango (NUP)

Butuntumula: Isaac Wampamba (NUP)

Katikamu: Ronald Kakande (NUP)

Luweero: Edward Zziwa (NUP)

Luweero Town Council: Robert Ssekubulwa Majanja (NUP)

Bombo Town council:  Hussein Kato (NRM)

Makulubita: Ronald Ssempala (NUP)

Nnyimbwa: Fred Kitaka (NUP)

Wobulenzi Town Council:Jaberi Tamale (NUP)

Ndejje Town Council: Isa Nsubuga (NUP)

Bamunanika: Fred Ssemwanga (NUP)

Kalagala: Herbert Kiggo(NRM).

Kamira: David Kalungi (IND).

Kikyusa: Derrick Lukanga Kibirango (IND).

Zirobwe: Keneth Kamutsya (NRM)

Busiika Town Council: Ahmed Kasibante(FDC).

Kamira Town Council: Daniel Kyaterekera (IND).

Kikyusa Town Council: Andrew Kaggwa Katumba (IND).

Zirobwe Town Council: Abdul Mazinga (NUP)

Butuntumula (Mukyala): Rita Nalweyiso (IND).

Luweero/Luweero Town Council(Mukyala): Faridah Najjuma (FDC).

Bombo Town Council (Mukyala): Kalsum Twalib SSeruwagi (NRM).

Katikamu/Wobulenzi (Mukyala): Joan Namuleme (IND).

Makulubita (Mukyala): Florence Nagitta (IND).

Nnyimbwa/Ndejje(Mukyala): Victor Nabukenya (IND)

Bamunanika (Mukyala): Christine Nalugo (NUP)

Kalagala/Busiika (Mukyala): Juliet Nakimbugwe (FDC).

Kamira/Kamira TC (Mukyala): Roset Nagadya Kahooza (IND)

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...