TOP

Abakadde bajjumbidde okulonda mu Kawempe

Added 25th January 2021

ENKUBA yataataaganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala. Kyokka eno abakadde balabiddwa nga bajjumbidde okulonda nga n'abamu baabaleese babasitudde.

Emmanuel Sserunjogi ng'akuba akalulu.

Emmanuel Sserunjogi ng'akuba akalulu.

BYA MOSES LEMISA

ENKUBA yataataaganyizza okulonda e Kawempe ekyawalirizza okusengula ebikozesebwa okulonda okubiteeka mu bifo ebirala. Kyokka eno abakadde balabiddwa nga bajjumbidde okulonda nga n'abamu baabaleese babasitudde.

Omuvubuka ng'asitudde omukadde Nanteza amutwala okulonda.

Ku kifo ky'obwa Mmeeya, ky'abaddeko  Dr. Emmanuel Sserunjogi wa NUP, Ashiraf Jjuuko Kiwanuka (Independent), Juma Wasswa NRM , Ramanthan Lukwago DP ne Muhamad Mutazindwa FDC.

Mu bifo ebirondebwamu ebimu  baabadde tebakkirizaayo baamawulire ng'okukulabako ne kkamera owulira kibooko. Kino okusinga ky'abadde mu Mayinja zooni awaayiriddwa amagye nga kigambibwa waabaaddeyo abeesimbyewo abaabadde babba obululu.

Omuwala ng'ayamba omukadde okulonda.

Akalulu akasinze okubaamu ebbugumu ke ka Muhamad Nsubuga  owa NUP ng'ono yakwatibwa ku misango gy'okusangibwa ne magaziini z'amasasi ng'era yeesimbyewo ku bwakansala bw'omuluka gwa Makerere III e Kawempe. Kyokka kino tekyalobedde bantu kumulonda.

Omuwala ng'akutte muzeeyi ku mukono bagenda okulonda.

Ye Moses Mutebi ne Zaituni Ndagire bazadde ba Nsubuga baategeezezza nti mutabani waabwe bwayitamu beetegefu okukola emirimu gy'omu kitundu gye yandibadde akola okutuusa ng'ayimbuddwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...