TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa NUP gwe baasiba mu kkomera awangudde akalulu

Owa NUP gwe baasiba mu kkomera awangudde akalulu

Added 25th January 2021

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n’atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala. Bazadde be bagumizza abatuuze nti wadde mutabani waabwe ali mu kkomera bagenda kuweereza ekitundu emirimu mutabani waabwe gye yandibadde akola okutuusa ng'avudde mu kkomera.

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Abawagizi ba NUP nga bakulisa Zaituni maama wa Nsubuga.

Muhamad Nsubuga owa NUP eyakwatibwa gye buvuddeko n'atwalibwa mu kkomera e Kitalya awangudde obwa kansala.

Bazadde be bagumizza abatuuze nti wadde mutabani waabwe ali mu kkomera bagenda kuweereza ekitundu emirimu mutabani waabwe gye yandibadde akola okutuusa ng'avudde mu kkomera. (Ebif. Bya Moses Lemisa).

Muhamad Nsubuga ali mu kkomera.

Nsubuga yakwatibwa ku misango gy'okusangibwa ne magaziini z'emmundu  ezaasangibwa mu kasasiro eyali okumpi n'omulyango gwe nga kino abazadde n'abatuuze baakiwakanmya nga bagamba abaserikale baapanga bipange.

Abawagizi ba Nsubuga we baabalidde obululu.

Nsubuga abadde avuganya n'abantu 11 okuli Salasi Kyobe Independent , Abasi Kibe , Noah Mukwaya n'abalala. Abawagizi olwategedde nti awangudde ne bagenda mu maka ga bazadde okubalisa n'okutema ddansi.

Abawagizi ba Nsubuga nga bajaganya.

Moses Mutebi Konkomebbi, kitaawe wa Nsubuga yategeezezza nti  ffamire  ye ewagira NRM kyokka Nsubuga yabavaako n'agenda mu NUP bbo kye bataalinako buzibu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...