
Abaserikale abaabadde balawuna ekitundu.
BYA EMMANUEL BALUKUSA
Okulonda mu mu munisipaali y'e Njeru kusoose kutaataaganyizibwa nkuba ekedde okufuddemba era abalonzi obwedda baamuswaba mu bifo ebirondebwamu. Mu Njeru abantu munaana be babadde bavuganya ku kifo kino.

Miriam Wayirimo alondedde ku Mazigid Jamia e Mbiko. Ategeezezza ng'okulonda kuno bwe kubaddemu ebintu bingi nga n'ebifo we babadde balondera tebabadde na mazzi g'anaaba mu ngalo okwetangira ekirwadde kya Corona.
Ate Mohammed Aula owa FDC yalondedde Bukaya. Ategeezezza ng'okulonda bwe kwaluddewo okutandika olw'enkuba kyokka n'ategeeza ng'abalonzi bwe beeyongeddeko okusinga ku baalonda ssentebe wa disitulikiti.

Ye Junju Aziz atalina kibiina yalondedde ku kyalo Kasanja. Alumirizza abamu ku baavuganya nabo okugaba ssente ssaako n'okutiisatiisa abantu. Abantu munaana ababadde bavuganya ku kifo kino kuliko Yasin Kyazze wa NRM, Mohammed Aula owa FDC, Siraje Kamya wa NUP, Miriam Wayirimo, Ceaser Kalema, Aziz Junju, Isaac Kirumira ne sheik Ayub Lubanga.