
Mberaze aleebya Ssebuggwaawo.
Bya Vivien Nakitende
We buzibidde ng'okubala obululu mu bitundu bya Lubaga South eby'enjawulo kulaga nga Munna NUP, Zachy Mawula Mberaze amanyiddwa ennyo nga ‘‘Taata Namuli'' ng'akyaleebya Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo owa FDC ku ntebe y'obwa Mmeeya bwa munisipaali y'e Lubaga.

Mberaze abadde akyaleebya mu bitundu okuli: Kabowa, Ndeeba, Busega, Lubaga n'awalala era abadde akubira wala Nabbosa.
Yo mu bitundu ebimu abamu ku baawangudde ku bwakansala baatandise dda okujaganya olw'okutuuka ku buwanguzi.

E Kabowa, Sylvia Nakidde owa NUP abadde ajaganya olw'okuwangula ekifo ky'omubaka omukyala owa Kabowa A, ng'awangudde ebifo byonna awalonderwa.