
Kigoonya.
Bya Vivien Nakitende
Angella Kigoonya Namyalo eyeesimbyewo ku bwameeya bwa munisipaali y'e Lubaga ku kaadi ya DP agamba nti akyali mugumu nti obuwanguzi bubwe.
Kigoonya eyalondedde mu zooni ya Ben Kiwanuka agambye nti, aludde ng'akolera Bannalubaga ebirungi kuba yaliko kansala was LCV okumala ekiseera ng'akakasa nti bagenda kumwesiga bamuwe akalulu abakulembere mu Lubaga.
Yategeezezza nti kati alindiridde buwanguzi kuba ye yekka ategeera ebya Lubaga era abisobola.