TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddiifiri w'oku katebe y'alaba ebisobyo ebitali mu kisaawe

Ddiifiri w'oku katebe y'alaba ebisobyo ebitali mu kisaawe

Added 26th January 2021

EMPAKA z'Amasaza ga Buganda zisigazza oluzannya lumu, olwa fayinolo. Omupiira gwa akwata ekyokusatu gujja kusinziira ku bategesi.

Ali Tomusange.

Ali Tomusange.

EMPAKA z'Amasaza ga Buganda zisigazza oluzannya lumu, olwa fayinolo. Omupiira gwa akwata ekyokusatu gujja kusinziira ku bategesi.

Mu semi ezaazaannyiddwa wakati wa Buddu ne Bulemeezi ssaako Gomba ne Busiro, nze ne bannange Mark Ssonko ne Samuel Kayondo, abaakulidde baddiifiri, twabawadde (baddiifiri), ebiragiro ebikakali oluvannyuma lw'okuteekebwa ku nninga nti baddiifiri ab'oku katebe banafu eri abantu abatuula mu kibangirizi ky'abakugu.

Twatadde nnyo essira ku mpisa z'abatendesi ababadde bavaamu ebigambo ebitanyuma. Kituufu, baddiifiri b'oku katebe bonna mu mpaka zaffe mu ggwanga balina obunafu obwo. Emirimu gya baddiifiri bano giri bwegiti; ono ye 'maneja' w'ebibangirizi byombi era abituula wakati.

Ateekeddwa okulaba ng'abantu bano (abatendesi, abasawo, basabusityuti n'abalala abayamba ttiimu mu bitali bimu), beeyisa bulungi. Bano nga bacankalanye, y'alina okubakkakkanya. Alina okubatuukirira mu ngeri ey'obukkakkamu wabula nga balina okukola ky'ayagala. Bwe bamulemerera, ng'ayita ddiifiri wa wakati alina amaanyi agamusingako.

IFAB, ekibiina ekivunaanyizibwa okubaga amateeka g'omupiira mu nsi yonna, yasalawo bonna abatuula wano, balagibwe kaadi eya kyenvu oba emmyuufu, nga kyetaagisizza. Ddiifiri w'oku katebe y'akola enteekateeka yonna ey'okukyusa abazannyi.

Waliwo ebyetaagisa okukola nga sabusityuti tannayingira. Akozesa bboodi eriko ennyukuta ezirabika ng'ennyangu okuzissaako, naye nga si nnyangu n'akamu. Eno bboodi gy'akozesa n'okulaga eddakiika ddiifiri z'abeera asazeewo okugatta ku muzannyo.

Emirimu gye emirala mulimu okutunuulira ennyo omuzannyi alwadde, n'engeri gyaddamu mu kisaawe (si y'amukkiriza okudda, wabula olumu abazannyi bano balina okumala okwekebejjebwa). Y'alabirara abeetikka omuzannyi omulwadde ku katanda, n'emirimu emirala. Ono era y'alabirira emipiira egizannyibwa, era ateekeddwa okupima omukka ogukkirizibwa okuba mu mupiira.

Mu mpaka eziri ku mutindo gw'ensi yonna, emipiira gibeera 10. Mu Masaza tubadde na mukaaga ku kisaawe ku buli muzannyo. Olwokuba alina obukugu bwe bumu ne ddiifiiri ali mu makkati era ng'asobola okulamula omupiira, eno ebweru gy'ali alagirwa okuyamba ku ddiifiri by'aba talabye.

Yeenyigira ddala mu muzannyo guno era akkirizibwa okuyingira ekisaawe naddala nga wazzeewo akavuyo. Enkola eriwo kati CAF gy'esomesa baddiifiri baayo, ey'obutabeera mu kifo kimu, atambulako mpola mpola okuyita ku kibangirizi ky'abakugu omuzannyo gye guba ku njuyi zombi.

Twagezezzaako okugikozesa mu mpaka zino, era nsuubira ejja kukola mu mpaka endala eza wano, akakiiko ka baddiifiri nga kamaze okumatizibwa. Ono era alina obuvunaanyizibwa ku basabusityuti ababuguma nga banaatera okwesogga ensiike, era ayamba nnyo munne mu mirimu ng'omuzannyo tegunnatandika.

Mulimu okulambula ttiimu okulaba ennyambala wamu n'okukola lipooti ng'omuzannyo guwedde. Oluvannyuma lw'ebiragiro byaffe, era bye twayanjulidde abatendesi, wabaddewo empisa ennungi mu mpaka z'Amasaza. Omutendesi omu yalagiddwa kaadi eya kyenvu. alitomusange12@gmail.com 0772624258

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...