TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawala bange omukwano temugufuula bizinensi erimu n'obufere

Bawala bange omukwano temugufuula bizinensi erimu n'obufere

Added 26th January 2021

ABAANA bange abalenzi n’abawala mbalamusizza. Abatebenkedde mu bufumbo nnyongera kubaagaliza mikisa. Abalinamu ebibatawaanya mbasabira Liisoddene abaggyirewo emiziziko gyonna.

ABAANA bange abalenzi n'abawala mbalamusizza. Abatebenkedde mu bufumbo nnyongera kubaagaliza mikisa. Abalinamu ebibatawaanya mbasabira Liisoddene abaggyirewo emiziziko gyonna.

Ensonga endeese leero ya bawala bange abeefuula nti baagala mukwano oba kiyite obufumbo kyokka nga banoonya byanfuna.

Wiiki ewedde mu mawulire gaffe gano twalabye omuwala eyayanise munnaddiini omukulu nga bwe yamuzaalamu omwana kyokka nga bombi balina obufumbo gye bali mu mateeka.

Bw'osoma engeri ebintu omuwala bw'azze abipanga, ekigendererwa kye kyali kya kukama ssente mu munnaddiini mu ngeri ya kumussa ku kisenge nti ssinga tonkolera kino, omukwano gwaffe gwe tubadde tukola mu nkukutu ng'enda kugwasanguza mu lujjudde.

Yasooka kumukanda kumukolera bizinensi, kitawe n'amugulira ettaka azimbeko n'ennyumba. Omuwala ettaka yalitunda ng'agamba nti liri wala mu kyalo.

Oluvannyuma yamukolera edduuka ng'alina essuubi nti ssente ezinaavangamu zinaamulabiriranga awamu n'omwana gwe yamuzaalamu.

Omuwala yagenda mu maaso n'okupeeka munnaddiini ebintu omuli n'okumuleeta mu Kampala awali okulya obulamu n'ebirungi enfofoolo.

Musajja wattu ensonga zaamutuuka ne yeekyawa nti ekiba kibe. Wano omuwala we yasaliddewo okwasanguza ensonga mu bannaddini banne ekyavuddeko naffe okuzimanya.

Abatabani be nawulidde nga boogera ku muwala, ekisooka baabadde beekokkola abawala abalungi nti bw'obawasa oba okubeera nabo mu mukwano obeera ku bunkenke anti buli musajja abeera amwegwanyiza ate nga nabo beetwala nti ssinga nnemwa wano nsobola okulaga awalala.

Ekirala nti omuwala ono engeri gye yapanga ebintu bye; kuba abadde alina n'abasajja abalala, yali yaakukola ssente mu munnaddiini nti kuba yatuuka n'okufuna akwata akatambi lwe baasisinkana mu wooteeri nga yali ategese okukakozesa ng'ekyokulwanyisa singa yali tava gy'ali.

Abaana bange abalenzi bongedde okutya nti mulimu abawala abafudde omukwano bizinensi erimu n'obufere olw'okubakamulamu buli kasente.

Ate bwe bamanya nti omusajja ali mu bufumbo babateeka ku nninga babakolere bye baba baagala bwe babeera tebaagala kubayingirira mu bufumbo bwabwe.

Bawala, obufumbo muleme kubufuula buzinensi erimu n'okutuuza abasajja ku nkato batuuke n'okwejjusa ekyabubatwalamu. Abange mweyongere okwekuuma obulwadde bwa Corona.

ABAANA bange abalenzi
n'abawala mbalamusizza.
Abatebenkedde mu bufumbo
nnyongera kubaagaliza mikisa.
Abalinamu ebibatawaanya
mbasabira Liisoddene abaggyirewo
emiziziko gyonna.
Ensonga endeese leero ya
bawala bange abeefuula nti
baagala mukwano oba kiyite
obufumbo kyokka nga banoonya
byanfuna.
Wiiki ewedde mu mawulire
gaffe gano twalabye omuwala
eyayanise munnaddiini omukulu
nga bwe yamuzaalamu
omwana kyokka nga bombi
balina obufumbo gye bali mu
mateeka.
Bw'osoma engeri ebintu
omuwala bw'azze abipanga,
ekigendererwa kye kyali kya
kukama ssente mu munnaddiini
mu ngeri ya kumussa ku
kisenge nti ssinga tonkolera
kino, omukwano gwaffe gwe
tubadde tukola mu nkukutu
ng'enda kugwasanguza mu
lujjudde.
Yasooka kumukanda
kumukolera bizinensi, kitawe
n'amugulira ettaka azimbeko
n'ennyumba. Omuwala ettaka
yalitunda ng'agamba nti liri
wala mu kyalo. Oluvannyuma
yamukolera edduuka ng'alina
essuubi nti ssente ezinaavangamu
zinaamulabiriranga
awamu n'omwana gwe yamuzaalamu.
Omuwala yagenda mu
maaso n'okupeeka munnaddiini
ebintu omuli n'okumuleeta
mu Kampala awali okulya
obulamu n'ebirungi enfofoolo.
Musajja wattu ensonga
zaamutuuka ne yeekyawa nti
ekiba kibe.
Wano omuwala we yasaliddewo
okwasanguza ensonga
mu bannaddini banne ekyavuddeko
naffe okuzimanya.
Abatabani be nawulidde nga
boogera ku muwala, ekisooka
baabadde beekokkola abawala
abalungi nti bw'obawasa oba
okubeera nabo mu mukwano
obeera ku bunkenke anti buli
musajja abeera amwegwanyiza
ate nga nabo beetwala nti
ssinga nnemwa wano nsobola
okulaga awalala.
Ekirala nti omuwala ono
engeri gye yapanga ebintu bye;
kuba abadde alina n'abasajja
abalala, yali yaakukola ssente
mu munnaddiini nti kuba
yatuuka n'okufuna akwata
akatambi lwe baasisinkana mu
wooteeri nga yali ategese okukakozesa
ng'ekyokulwanyisa
singa yali tava gy'ali.
Abaana bange abalenzi
bongedde okutya nti mulimu
abawala abafudde omukwano
bizinensi erimu n'obufere
olw'okubakamulamu buli
kasente.
Ate bwe bamanya nti
omusajja ali mu bufumbo babateeka
ku nninga babakolere
bye baba baagala bwe babeera
tebaagala kubayingirira mu
bufumbo bwabwe.
Bawala, obufumbo muleme
kubufuula buzinensi erimu
n'okutuuza abasajja ku nkato
batuuke n'okwejjusa ekyabubatwalamu.
Abange mweyongere
okwekuuma obulwadde bwa
Corona.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...