TOP

Abawangudde mu Kampala beetala

Added 26th January 2021

EBYABADDE byakava mu kubala obululu mu kulonda bammeeya ba munisupaali za Kampala byabadde biraga nti Joyce Ssebuggwawo owa Lubaga ne Charles Musoke Serungogi owa Kampala Central baabadde bawanguddwa.

Emmanuel Sserunjogi awangudde e Kawempe.

Emmanuel Sserunjogi awangudde e Kawempe.

Bya KIZITO MUSOKE, MARGRET ZALWANGO, E. SSEKAGGO, PONSIANO NSIMBI,                                          EDWARD LUYIMBAAZI, JAMES MAGALA, VIVIEN NAKITENDE NE FRED KISEKKA

EBYABADDE byakava mu kubala obululu mu kulonda bammeeya ba munisupaali za Kampala byabadde biraga nti Joyce Ssebuggwawo owa Lubaga ne Charles Musoke Serungogi owa Kampala Central baabadde bawanguddwa.

Mberaze eyawangudde e Lubaga.

Wabula ye Meeya wa Kawempe Emmanuel Serunjogi Oweddembe n'owa Makindye Haji Ali Nganda Mulyannyama baabadde bakulembedde n'obululu bungi. Akakiiko k'ebyokulonda kasuubirwa okulangirira ebitongole ebyavudde mu kalonda enkya ya leero wabula tiimu y'abasasi ba Bukedde abaabadde mu bitundu eby'enjawulo baakuηηaanyizza ebimu ku byalangiriddwa.

MBERAZE AMEZZE SSEBUGGWAWO:                                                                                                                                E Mutundwe C/U, Mberaze (NUP) yafunye 287 ate Nabbosa (FDC) 229. E Kikaaya zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyeewo 260 ate Nabbosa 147. Mu Aggrey zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyewo 156 ate Nabbosa 70. Embeera y'emu ye yabadde mu Kironde zooni e Kabowa, Mberaze we yafunye 459 ate Nabbosa 158. Mu Nsiike zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyeewo 303 ate Nabbosa 102.

Uhuru wa Kampala Central.

Abalonzi obwedda bagamba nti wadde nga Nabbosa abadde muweereza mulungi, kyokka ekiseera kituuse bawe ku musaayi omuto. Kyokka waliwo n'abalala obwedda abawulirwa nga bagamba nti tebaagala kumanya ekyabatutte kulonda manvuuli, abamu gwe bayita omuyaga ogukunta. "Nze sifaayo ne bwe nsanga ku kalulu nga kuliko ekifaananyi kya Fred Enanga omwogezi wa poliisi, kasita abeerako manvuuli nnonda bulonzi" omulonzi omu bwe yasesezza banne.

Abawagizi ba Mulyannyama nga bawaga.

MAKINDYE: Mmeeya wa Makindye, Hajji Ali Kasirye Nganda Mulyannyama (NUP) we bwawungeeredde ng'akubira waggulu. Yalondedde ku Ttaawo Polling Station e Katwe. Banne bwe baavuganyizza okwabadde Moses Kalungi Kirumira owa DP ne Muzafaru Kiyemba, sipiika w'olukiiko lwa munisipaali eyazze nga talina kibiina obwedda abakubira wala.

Kiyemba yalabise ng'eyabadde teyeekakasa kuba olwamaze okulonda yategeezezza bannamawulire
nti bwe bamuwangula tajja kwewuunya okusinziira ku muyaga gwa NUP mu Kampala.
E Bukasa A-M, Mulyannyama yafunyeewo 133, Bob Muhumuza owa NRM -92, Kalungi-34.

KAMPALA CENTRAL: Charles Musoke Sserunjogi meeya wa Kampala Central yakoze bulungi mu muluka gw'e Kamwokya wabula mu bitundu ebirala okuvuganya kwabadde wakati wa Salim Uhuru owa NRM ne Hamdan Semugooma Kigozi owa NUP.

Wadde nga Uhuru yakoze bulungi mu Kisenyi, kyokka e Nakasero mu katale n'ebitundu ebiriranyewo, Semugooma yabadde awanguddewo. NAKAWA Paul Mugambe NUP, yalondedde ku zooni ya Agaati e Luzira era ebyavudde mu bitundu ebisinga obungi byalaze nga yabadde akyakulembedde.

Obwedda okusinga addirirwa Bruhan Mugisha owa NRM ne Florence Mungi Namata abadde omumyuka wa meeya we Nakawa. Mutungo zooni 2, Kiduuka, mugambe 505, Byaruhanga-147.

KAWEMPE: Emmanuel Sserunjogi owa NUP obwedda awangulira waggulu buli wamu. Mu muluka gwa Makerere III ku Poling Station ya St. Nicholas ng'erina ebifo bisatu we balondera ekifo ekisooka Sserunjogi yafunye obululu 191 amuddiridde Ashiraf Kiwanuka Jjuuko 51. Ekyokubiri Sserunjogi afunye 184, Kiwanuka n'afuna 65. Ekirala yafunye 168 ate Kiwanuka 54.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...