TOP

Boogedde bye balabye mu myaka 35 egya NRM

Added 26th January 2021

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba nti wadde nga mu kujja kwa NRA emyaka ekkumi egyasooka baali baweze enkola y’ebibiina nga bataddewo omugendo kyokka 2005 enkola y’ebibiina yazzibwawo nga bayita mu mateeka era Pulezidenti Museveni n’akikkiriza wadde nga yali takkaanya nakyo.

Isreal

Isreal

OMUKAGO OGUTABA EBIBIINA BYOBUFUZI

Micheal Orahi Osinde agamba nti okuzzibwawo kw'enkola y'ebibiina kyayamba okuzimba ebyobufuzi eby'okukubaganya ebirowoozo era agamba nti omukago gwabwe guweebwa obukadde 500 buli mwaka okutuuza enkiiko okukubanganya ebirowoozo ku byobufuzi bwe birina okutambula.

Mu ngeri y'emu Osinde ayogera ne ku mukago ogutaba ebibiina ebirina ababaka mu Palamenti nagwo ogwassibwawo mu 2010 nagwo gw'agamba nti gukola kinene okutumbula okwogerezeganya mu bibiina by'obufuzi era ng'ebibiina biriko ne ssente ze bifuna okuva mu Gavumenti okuyimirizaawo emirimu gyabyo wadde ng'agamba nti ebibiina bikyabulamu okuweebwa eddembe lyabyo okwegazaanya.

EBYENFUNA

Osinde agamba nti wadde Gavumenti ya NRM egamba erwanyisizza obwavu, kikyabulamu nnyo kubanga wadde abantu bakola naye obugagga obusinga buli mu bantu batono ddala.

ABATUNUULIZI B'EBYOBUFUZI

Israel Mayengo, munnabyabufuzi omugundiivu era abaddewo okuviira ddala ku mulembe gwa CA wabula nga mu kiseera kino mutunuulizi wa byabufuzi emyaka gya NRM 35 agyogerako bw'ati.

ENGUUDO;

NRM we yajjira enguudo zaali mbi nnyo era ng'okuzimba enguudo kyali tekissibwako mulaka wadde nga kyali kikulu! Wabula agamba NRM egezezzaako wadde nga omulimu gukyali munene ddala n'okutuusa leero.

Gavumenti okutunda ebitongole byayo eri abantu babiddukanye, Mayengo agamba ebitongole eby'enjawulo okuli; UEB ekyali eky'amasannyalaze, UCB, Cooperative Union, byatundibwa okukyusa ebyenfuna wabula agamba nti ekizibu abantu abamu abaaguzibwa ebimu ku bitongole n'okutuusa leero tebamanyikanga.

OKULWANYISA OBUSOSOZE MU MAWANGA

Mayengo agamba nti NRM yali egezezzaako okugatta ebibiina byonna awatali kusosola mu ddiini wadde amawanga. Agamba nti ye n'abantu abalala okwali omugenzi Ssebaana Kizito, Bidandi Ssali, Richard Kaijuka beegatta ku NRM nti kyokka eky'ennaku bangi bazze beekutulako ky'agamba nti ensonga ezigenda zikutulako abantu ku kibiina zeetaaga okutunulwamu.

OKUTUMBULA EBYENFUNA

Mayengo agamba nti Gavumenti ya NRM yajja n'enkola ey'okuwola abalina amakolero ssente ku magoba amatono okubasobozesa okukola wabula nti bbanka zonna ezaali zitandikiddwaawo bannansi mu biseera ebyo zonna zaagwa.

Anokolayo Greenland, Nile Bank, Gold Bank n'endala ng'agamba okugwa kwa bbanka ezo kwalekawo ebibuuzo bingi ebitaddibwangamu n'okutuusa olwaleero.

OKULWANYISA ENGUZI

Mayengo agamba nti mu myaka 20 egyasooka egya Gavumenti ya NRM okulya enguzi kyali kivume ng'abakungu ba Gavumenti bonna baali batya okukwatibwa nti kyokka abamu ku bali b'enguzi bwe baatandika okukwatibwa nga bwe bateebwa awatali kibakolebwako abantu ne bagufuula musono.

SSEMATEEKA

Mayengo agamba nti Pulezidenti Museveni yavumirira eky'abakulembeza okweremeza mu buyinza era mu Ssemateeka wa 1995 wassibwawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti wadde nga lyaggyibwawo mu 2005 ye ky'agamba nti kikyamu ate era n'awakanya okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu nnyingo 102(b) eyakyusibwa mu 2017 ng'agamba birinnyirira Ssemateeka.

AVUNAANYIZIBWA KU BY'AMAWULIRE MU NRM

Emmanuel Ddombo avunaanyizibwa ku byamawulire mu kibiina alambika ebituukiddwaako. Gavumenti okweggyako ebintu ebimu, Ddombo agamba nti okuzimba eggwanga, Gavumenti ya NRM yalina okutunda ebintu ebimu bye yali tekyasobola kuddukanya bulungi okuwa abantu omwagaanya okubiddukanya.

Anokolayo okutunda UTC ky'agamba nti kyawa abantu omukisa okussa ssente mu byentambula nga leero Uganda erimu kkampuni za bbaasi eziwerako nga zonna zitonzeewo emirimu.

Ebirala by'ayogerako Gavumenti by'ekoze mulimu okutambuza amasannyalaze, ng'ezimba ebbibiro lya Bujagaali, Karuma n'amalala.

Kuno kwossa okusitula ebyenjigiriza nga kati Uganda erina yunivasite za gavumenti 10 so nga we yajjira waaliwo Makerere yokka. Ebyobulamu, ebyokweri

Micheal Orahi Osinde, omwogezi
w'omukago ogutaba
ebibiina byobufuzi byonna mu
ggwanga ogwassibwawo mu
2010 agamba nti wadde nga mu
kujja kwa NRA emyaka ekkumi
egyasooka baali baweze enkola
y'ebibiina nga bataddewo
omugendo kyokka 2005 enkola
y'ebibiina yazzibwawo nga bayita
mu mateeka era Pulezidenti Museveni
n'akikkiriza wadde nga yali
takkaanya nakyo.
Osinde agamba nti okuzzibwawo
kw'enkola y'ebibiina
kyayamba okuzimba ebyobufuzi
eby'okukubaganya ebirowoozo era
agamba nti omukago gwabwe guweebwa
obukadde 500 buli mwaka
okutuuza enkiiko okukubanganya
ebirowoozo ku byobufuzi bwe
birina okutambula.
Mu ngeri y'emu Osinde ayogera
ne ku mukago
ogutaba ebibiina
ebirina ababaka
mu Palamenti
nagwo ogwassibwawo
mu 2010
nagwo gw'agamba
nti gukola kinene
okutumbula
okwogerezeganya
mu bibiina by'obufuzi era
ng'ebibiina biriko ne ssente ze
bifuna okuva mu Gavumenti okuyimirizaawo
emirimu gyabyo wadde
ng'agamba nti ebibiina bikyabulamu
okuweebwa eddembe lyabyo
okwegazaanya.
EBYENFUNA
Osinde agamba nti wadde Gavumenti
ya NRM egamba erwanyisizza
obwavu, kikyabulamu nnyo
kubanga wadde abantu bakola
naye obugagga obusinga buli mu
bantu batono ddala.
ABATUNUULIZI B'EBYOBUFUZI
Israel Mayengo, munnabyabufuzi
omugundiivu era abaddewo
okuviira ddala ku mulembe
gwa CA wabula nga mu kiseera
kino mutunuulizi wa byabufuzi
emyaka gya NRM 35 agyogerako
bw'ati.
ENGUUDO; NRM we yajjira
enguudo zaali mbi nnyo era
ng'okuzimba enguudo kyali tekissibwako
mulaka wadde nga kyali
kikulu! Wabula agamba NRM
egezezzaako wadde nga omulimu
gukyali munene ddala n'okutuusa
leero.
Gavumenti okutunda ebitongole
byayo eri abantu babiddukanye,
Mayengo
agamba
ebitongole
eby'enjawulo
okuli; UEB ekyali
eky'amasannyalaze,
UCB,
Cooperative
Union, byatundibwa
okukyusa ebyenfuna
wabula agamba nti ekizibu
abantu abamu abaaguzibwa ebimu
ku bitongole n'okutuusa leero
tebamanyikanga.
OKULWANYISA OBUSOSOZE
MU MAWANGA
Mayengo agamba nti NRM yali
egezezzaako okugatta ebibiina
byonna awatali kusosola mu ddiini
wadde amawanga. Agamba nti ye
n'abantu abalala okwali omugenzi
Ssebaana Kizito, Bidandi Ssali,
Richard Kaijuka beegatta ku NRM
nti kyokka eky'ennaku bangi bazze
beekutulako ky'agamba nti ensonga
ezigenda zikutulako abantu
ku kibiina zeetaaga okutunulwamu.
OKUTUMBULA EBYENFUNA
Mayengo agamba nti Gavumenti
ya NRM yajja n'enkola ey'okuwola
abalina amakolero ssente ku
magoba amatono okubasobozesa
okukola wabula nti bbanka zonna
ezaali zitandikiddwaawo bannansi
mu biseera ebyo zonna zaagwa.
Anokolayo Greenland, Nile Bank,
Gold Bank n'endala ng'agamba
okugwa kwa bbanka ezo kwalekawo
ebibuuzo bingi ebitaddibwangamu
n'okutuusa olwaleero.
OKULWANYISA ENGUZI
Mayengo agamba nti mu myaka
20 egyasooka egya Gavumenti ya
NRM okulya enguzi kyali kivume
ng'abakungu ba Gavumenti bonna
baali batya okukwatibwa nti kyokka
abamu ku bali b'enguzi bwe
baatandika okukwatibwa nga bwe
bateebwa awatali kibakolebwako
abantu ne bagufuula musono.
SSEMATEEKA
Mayengo agamba nti Pulezidenti
Museveni yavumirira
eky'abakulembeza okweremeza
mu buyinza era mu Ssemateeka
wa 1995 wassibwawo ekkomo
ku bisanja bya Pulezidenti wadde
nga lyaggyibwawo mu 2005 ye
ky'agamba nti kikyamu ate era
n'awakanya okuggya ekkomo ku
myaka gya Pulezidenti mu nnyingo
102(b) eyakyusibwa mu 2017
ng'agamba birinnyirira Ssemateeka.
AVUNAANYIZIBWA KU BY'AMAWULIRE
MU NRM
Emmanuel Ddombo avunaanyizibwa
ku byamawulire mu kibiina
alambika ebituukiddwaako.
Gavumenti okweggyako ebintu
ebimu, Ddombo agamba nti
okuzimba eggwanga, Gavumenti ya
NRM yalina okutunda ebintu ebimu
bye yali tekyasobola kuddukanya
bulungi okuwa abantu omwagaanya
okubiddukanya. Anokolayo okutunda
UTC ky'agamba nti kyawa
abantu omukisa okussa ssente mu
byentambula nga leero Uganda erimu
kkampuni za bbaasi eziwerako
nga zonna zitonzeewo emirimu.
Ebirala by'ayogerako Gavumenti
by'ekoze mulimu okutambuza
amasannyalaze, ng'ezimba ebbibiro
lya Bujagaali, Karuma n'amalala.
Kuno kwossa
okusitula ebyenjigiriza
nga
kati Uganda
erina yunivasite
za gavumenti
10 so nga we
yajjira waaliwo
Makerere
yokka.
Ebyobulamu,
ebyokweri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...