POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw'erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w'e Masaka eyawummula, John Baptist Kaggwa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Kobusigye yatadde obubaka ku Facebook ng'alumiriza nti okufa kwa Omusumba Kaggwa poliisi evunaanyizibwa nti yamuwa obutwa, ekintu Poliisi ky'egamba nti si kituufu.
Omugenzi Bishop Kaggwa.
Yagambye nti, Kobusigye agamba nti obutwa poliisi yabuyisa mu masiki eyamuweebwa akulira ekitongole kya poliisi ekitabagana n'omuntu waabulijjo Asan Kasingye eyakulemberamu abaserikale abaagenda e Masaka okumwetondera ku byaliwo ku butaka bwa Abembogo e Mugulu. Yategeezezza nti, Kobusigye alina ekigendererwa eky'okusaasaanya amawulire ag'obulimba n'obukyayi era poliisi etandise okumunoonya.
OMWANA EYAFA E KANONI TEYAKUBWA SSASI
Enanga era yasambazze ebiyiting'ana nti, omwana Rahmat Mirembe eyafa e Kanoni nga bwe yakubwa essasi mu kwekalakaasa okwaliwo. Yagambye nti poliisi ng'eyambibwako eyawangudde obubaka bwa palamenti mu kitundu kino, Dr. Twaha Kagabo, yakolaganye ne Dr. Hannington Mwesigye ne baziikula omulambo gw'omwana Mirembe ne bagwekebejja.
Yagambye nti, kyazuuliddwa nti, omwana Mirembe eyali ow'emyezi ebiri nga maama we Sauda Nakaweesi yali mu maduuka akasambadduko akaali mu kabuga k'e Kinoni we kaagwirawo ne yeekoona ku konteyina era omwana naye n'amukoona ekyamuyisa obubi oluvannyuma n'afa.
Yategezezza nti kino kyawa bannakigwanyizi omukisa okusaasaanya amawulire ag'obulimba era ebyavudde mu kwekebejja omulambo byalaze nti tewali ssasi lyakwasa mwana Mirembe.
POLIISI ERABUDDE ABAGULA MMOTOKA NE BATAZIZZA MU MANNYA GAABWE
Poliisi y'ebidduka eraalise okukwata bannannyini mmotoka abagaanyi okuzikyusa okuziwandiisa zidde mu mannya gaabwe. Akulira ekitongole kya poliisi eky'ebidduka Lawrance Nuwabiine bwe yabadde ayogera eri abaamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru ku Mmande yagambye nti, bangi ku bannannyini mmotoka bazivuga kyokka nga teziri mu mannya gaabwe nga ziri mu mannya gaabo abazibaguza ekintu ekikyamu.
Yagambye nti, waliwo abagula mmotoka ne bakoma ku ndagaano kwe baagulidde wabula nga eno ekola okumala ennaku 14 zokka kuba lye bbanga eriweebwa okusobozesa omuntu okugikyusa okugizza mu mannya ge n'okufuna akatabo akagikwatako ( Logbook).
Yategeezezza nti ensangi zino poliisi eri mu kuteekateeka ebyuma byayo okukola emirimu egimu nga kkamera z'oku luguudo ezisobola okukwata nnamba ya mmotoka ne kiyamba okumanya nnyini yo wabula ezisinga obungi zikyali mu mannya g'abo be baazigulako.