TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde amenya amayumba g'abatuuze n'ababba alula

Abadde amenya amayumba g'abatuuze n'ababba alula

Added 26th January 2021

OMUVUBUKA eyakwatiddwa ku gw'okumenya amayumba g'abantu yeewaddeko obujjulizi ng'enju gye yasoose okumenya bwetabaddemu bintu bya bbeeyi ate endala kkufulu yamulemesezza.

Wasswa nga bamuyingiza akaduukulu.

Wasswa nga bamuyingiza akaduukulu.

BYA MOSES LEMISA

OMUVUBUKA eyakwatiddwa ku gw'okumenya amayumba g'abantu yeewaddeko obujjulizi ng'enju gye yasoose okumenya bwetabaddemu bintu bya bbeeyi ate endala kkufulu yamulemesezza. Olwo abantu baabadde bamukubye nga yenna atonnya musaayi era olwamutuusizza ku poliisi ye yeggulidde akaduukulu ng'atya abantu okumuddamu okumukuba.  

Ivan Wasswa ye yawonye okuttibwa abatuuze b'omu Ssebina Zooni e Kawempe abaamulumirizza okubalabiriza nga bagenze okulonda n'amenya amayumba gaabwe.

Wasswa yagambye nti yali akolera Tanzania omulimu ne guggwaawo kwe kudda kuno nga kati ali mu mbeera ya kweyiiya. Yategeezezza nti yamenye ennyumba ssatu ng'emu mwe yasanze ebintu bye yabbye n'abitunda.

Frank Ayo akulira poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti Wasswa baasooka ne bamukwata n'ayimbulwa  ng'akakasizza abaserikale obutaddamu kubba  nga ku luno agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe kubanga abatuuze bazze bamwemulugunyako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...