TOP

NRM yeddiza Njeru, FDC n'etwala Lugazi

Added 26th January 2021

MUNNAKIBIINA kya NRM Yasin Kyazze awangudde obwa Mmeeya wa Njeru Municipality. Kyazze awangudde n'obululu 12,743 n'addirirwa Junju Aziz amuddiridde afunye 9,771olwo abalala ne bagoberera.

John Bosco Aseya Azuma (ku ddyo) eyawangudde obwameeya bwa Lugazi.

John Bosco Aseya Azuma (ku ddyo) eyawangudde obwameeya bwa Lugazi.

Bya Mukasa Kivumbi  ne Emmanuel Balukusa

MUNNAKIBIINA kya NRM Yasin Kyazze awangudde obwa Mmeeya wa Njeru Municipality. Kyazze awangudde n'obululu 12,743 n'addirirwa Junju Aziz amuddiridde afunye 9,771olwo abalala ne bagoberera.

Yassin Kyazze owa Njeru ng'ajaganya n'abawagizi be.

Ate e Lugazi , Asea John Bosco owa FDC naye awangudde obwa Mmeeya bw'ekibuga ekyo ng'afunye obululu 7,916 ate Deo Tumwesigye Mbabazi amuddiridde n'afuna 7,393.

Ssali Baker afunye 5,141 nga ate ye Mwondha Patrick owa NUP afunye 2,747 , Ssekatawa Ashiraf n'afuna 620 olwo Eliphaz Mbabazi n'afuna 128.

Abawagizi ba Asea nga basitudde ka ssemufu ka Mbabazi.

Asea asuubizza abamulonze okutandikira we yakoma bwe yali akyali Mmeeya wa Lugazi Town Council.Abawagizi ba Asea baakoze ka semufu ka mune gw'abadde avuganya naye Deo Mbabazi Tumwesigye ne bakeetoolooza tawuni y'e Buikwe nga bwe bayimbirako  n'ennyimba ezivvoola obukulembeze bwa Mbabazi nga mmeeya aliko kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...