
Pulezidenti Museveni.
PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni agambye nti mwetegefu okutabagana n'abooludda oluvuganya Gavumenti oluvannyuma lw'okubawangula mu kolunda okwaliwo nga January 14, 2021.
Museveni yabadde ayogera ku bikujjuko by'okujaguza bwe giweze emyaka 35 egya NRM /A mu State House e Ntebe ku Lwokubiri.

Okwogera bino kiddiridde Msgr Charles Kasibante, okusaba Gavumenti okukkiriza Pulezidenti w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine okumuddiza eddembe lye ery'okwogera n'okutambula. Okuva nga January 14, 2021 okulonda lwe kwaliwo, Gavumenti yayiwa amagye okwetooloola amaka ga Kyagulanyi nga takkirizibwa kutambula.
Kasibante yagambye nti Gavumenti bwekola kino kajja kuba akabonero k'okutabagana.
Kyokka Museveni mu kumwanukula yagambye nti azannyira mu ansa kubanga eyo ye nkola yaabwe. Yategeezezza nti ekyo tebakirinaako buzibu kyokka kyatayinza kukkiriza be bantu abakola effujjo, okutiisatiisa abalala n'okubba obululu.