
Fr. Musaala.
FAAZA Anthony Musaala agambye nti kikyamu okukissa ku Klezia nti yeyuddeko NRM obutakola bulungi mu kalulu mu kitundu kya Buganda. Yagambye nti Bafaaza abamu okwogera ku byobufuzi tekitegeeza nti Klezia ebyenyigiddemu, wabula babeera batuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe. Gye buvuddeko, Minisita ow'Ensonga z'Obwapulezidenti, Esther Mbayo yagambye nti Bannaddiini babadde bakunga abantu baleme kulonda NRM, ng'eno y'emu ku nsonga eyabaviiriddeko okukola obubi. "Bye twogera bya Vanjigiri kubanga Yezu bwe yatandika obuweereza yagamba nti ‘Omwoyo wa Mukama antumye okubuulira abaavu amawulire agasanyusa, n'abasibiddwa mu makomera babate' Musaala bwe yagambye. "Waliwo minisita eyagambye nti Banaddiini babeere mu bya ddiini ebyobufuzi babiveemu naye si bwekiri. Omwoyo gubeera n'omubiri, bw'ojja mu Klezia ojja n'omubiri gwo n'omwoyo gwo," Fr. Musaala, bwe yagambye ng'ayigiriza mu mmisa eyabadde ku Lutikko e Lubaga ku Ssande, n'asaba bonna abaalondeddwa okukulembeza eggwanga nga balwanyisa enguzi, ekibba ttaka, n'ebirala. Missa yeetabiddwako omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi ne bannabyabufuzi abalala