
Oulanyah
OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah agambye nti mwetegefu okuttunka ne Rebecca Kadaga ku kifo kya Sipiika singa agaana okumulekera nga bwe bakkaanya mu 2016. Oulanyah yagambye mu May wa 2016 yali asazeewo avuganye ne Kadaga, kyokka bwe baasisinkana olukiiko lwa NRM olw'oku ntikko olwa CEC ne bamumatiza era n'akkiriza okulekera Kadaga. "Twakkaanya mu lukiiko olwalimu Pulezidenti Museveni ne Kadaga yennyini ne bammatiza mulekere asobole okukulembera ekisanja ekyokubiri.
Kyokka kyanneewuunyisizza bwe namuwulidde ng'agamba nti akomawo ku bwasipiika" Oulanyah bwe yagambye. Yagasseeko nti wadde nga ku mulundi oguwedde yakkiriza okuva mu lwokaano, ku mulundi guno tajja kukikola kuba engeri Kadaga gy'akyusaamu ebigambo bye tewa kifaananyi kirungi eri bannabyabufuzi abato.
Bye bakkaanyaako mu lukiiko lwa CEC, Oulanyah agamba nti bye baayanjulira n'olukiiko lw'akabondo k'ababaka ba NRM. Oulanyah yagambye nti kyamwewuunyisizza ate okulaba Kadaga ng'atambula ku ttivvi ez'enjawulo ng'asaba okuddamu okumulonda. "Bw'aba ng'ayagala kulabikira ku ttivvi, ndowooza kyandibadde kirungi ne bategeka okukubaganya ebirowoozo ne batuyita ffembi, olwo abantu ne basalawo,"Bwe yagambye. Waliwo enkola eyayitibwangamu emabegako, Sipiika n'alondebwa nga bayita mu kukkaanya ng'ekigendererwa kyali kya kulaba nga Sipiika abeera wa bonna.
Oulanyah era yawakanyizza ne Kadaga by'ayogera nti ye yayamba ekiteeso ky'okukyusa konsitityusoni ne bakyusa ennyingo 102 (b) eyaggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti. Yagambye nti gwali mulimu gwa babaka bonna abaateeka n'okukuba akalulu era talaba nsonga lwaki Kadaga yeetwala nti ye yakiyisa. Yagasseeko nti bw'aba akubiriza enkiiko tabeera na kyekubira, era bw'awulira Kadaga by'ayogera biraga nti bw'aba akubiriza enkiiko abeera aliko aludda lw'ayagala luwangule.