
Biden n'embwa ye.
WASHINGTON, Amerika JOE Biden 78, akomezzaawo akalombolombo ka bapulezidenti ba Amerika ne ffamire zaabwe okubeera n'embwa oba ebisolo ebirala mu maka ga White House.
Eby'embwa bizze bibaawo okumala emyaka okuggyako Donald Trump ataaleeta zize wabula ng'abamumanyi bagamba nti mukambwe nnyo okubeera n'embwa ezeetaaga abantu ab'ekisa. Okutuusa lw'avudde mu ntebe, Abamerika babadde baakyerabira.
Beekanze Biden ne mukyala we, Dr. Jill bayingizzaawo embwa bbiri ez'ekika kya German Shepherd. Embwa zino eziyitibwa Champ ne Major zaatuusiddwa okuva mu maka gaabwe mu ssaza ly'e Delaware mu bitiibwa nga zaapangisiriziddwa ennyonyi ey'enjawulo. Trump agenda okutuula mu ntebe mu 2017, gyali gisusse emyaka 100 nga tewali Pulezidenti alese mbwa ye mu maka ge amakadde.
Kyali kyasemba okubaawo ku James K Polk eyaliko wakati wa 1845 ne 1849 ne Andrew Johnson eyaliko wakati wa 1865 ne 1869. Andrew wabula yeewuunyisa abantu nti wadde teyalina mbwa, yalina eggana ly'emmese enjeru lye yalabiriranga.
Emmese ezo bannassaayansi bazisomerako omuli abasawo abayiga okulongoosa, okuzikolerako okunoonyereza ku bisolo n'eddagala saako okuziguza abalunda ebisolo ng'emisota egizirya ng'emmere.
Ebisolo ebirala ebizze birundibwa mu White House mulimu embalaasi, ente, embuzi, enkoko, kkapa n'endiga. Embwa ze zisinga okwettanirwa Abazungu olw'okubasanyusa n'okubakolera emirimu omuli okutegeeza ab'omu maka abalala singa waliwo omu aba afunye obuzibu.