
Halima Namakula.
Omuyimbi Halimah Namakula si mumativu n'ebyavudde mu kulonda omubaka akiikirira abakadde b'omu Buganda n'alumiriza abaakulembeddemu okulondesa olw'enkola ey'ekibba bululu eyakozeseddwa. Kati asazeewo kugenda mu kkooti awakanye obuwanguzi bwa Peninah Busingye.
Halima agamba nti Peninah Busingye Kalenge 77, amanyiddwa nga Maama Kisanja eyalangiriddwa ku buwanguzi n'obululu 113 n'addiriwwa Halimah Namakula 61, yeenyigidde mu bikolwa eby'okugulirira abalonzi.
Kyokka Maama Kisanja bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti Halimah tamumalira biseera bw'aba ayagala agende mu kkooti. "Nze mbadde mu NRM okumala ebbanga nga ye ali wa? Ye lwaki taddayo ku kyeyo gy'abadde?" Maama Kisanja bwe yagasseeko.
Namakula agamba nti okulonda kwetobeseemu emivuyo mingi nga gireetebwa mukyala Busingye n'abaakuliddemu okulonda. "Mmaze okukung'aanya obujulizi bwonna obwetaaga okugenda mu kkooti era njogedde ne bannamateeka bange okulaba ng'ensonga zino zigonjoolwa.
Nze okuvaayo bwenti tekitegeezza nti neegwanyiza kifo nedda, neesimbyewo okwagala okuweereza abakadde kubanga ndudde nga mbalwanirira naye ate bwe tuvuganya omuntu n'awangula mu butuufu simulinaako buzibu naye omuntu ayagala okunyaga ekifo kino sikkiriziganya naye," Halima bwe yagambye.