TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatemudde mukwano gwe n'amubbako omwana ayogedde

Eyatemudde mukwano gwe n'amubbako omwana ayogedde

Added 27th January 2021

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganzi we mu bizinga by’e Kalangala. Napolota Anite oluusi eyeeyita Anita Nakanyike 27, yagambye nti, omwana yabadde amubbidde muganzi we gwe yayogeddeko erya Ssentongo, omuvubi ku kizinga ky’e Miyana mu Kalangala poliisi gye yamukwatidde.

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

Anite (ku ddyo) ng’atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono. Mu katono ye Nakiguli eyattiddwa.

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n'amubbako omwana e Mukono n'amutwalira muganzi we mu bizinga by'e Kalangala. Napolota Anite oluusi eyeeyita Anita Nakanyike 27, yagambye nti, omwana yabadde amubbidde muganzi we gwe yayogeddeko erya Ssentongo, omuvubi ku kizinga ky'e Miyana mu Kalangala poliisi gye yamukwatidde.

Nagawa nnyina wa Nakiguli eyattiddwa mu miranga.

Yagambye nti, amaze ebbanga nga baagalana ne Ssentongo wabula Corona bwe yajja mu Uganda, baayawukana n'agenda ewaAbwe e Mukono ku kyalo Wakiso mu ggombolola y'e Nama kyokka oluvannyuma n'amutegeeza nti, yali yagenda n'olubuto era Ssentongo n'atandika okumuweereza ssente.

Ssentongo mu siteetimenti gye yakoze ku poliisi yagambye nti, ku ntandikwa y'omwaka guno, Anite yaddayo e Kalangala wabula bwe yamubuuza omwana yamugamba nti, yamuleseeyo n'amusaba ssente addeyo amukime bwe yatuuse e Mukono kwe kutta Caroline Nakiguli 31, abadde mukwano gwe.

Nakiguli eyatemuddwa.

Christine Nagawa 50, maama wa Nakiguli yagambye nti, Anita yayagadde n'okutta muzzukulu we (muwala wa Nakiguli) Patricia Kisakye Nantale, 8. Yagambye nti, nga January 20, Anita yayita Nakiguli ne Nantale bamuwerekereko mu kibira okutyaba enku bwe bavaayo bayitireko ne mu nnimiro basoggoleyo lumonde.

Yagasseeko nti, Nakiguli yasoose kugaana kubanga yabadde talya lumonde wabula oluvannyuma n'akkiriza. "Bwe baatuuse mu lubirabira omwana agamba, Anita yavudde mabega nga Nakiguli akutamye n'amukwata ensingo n'aginyoola," Nagawa bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, Nakiguli yali agenze ne bbebi we nga Nantale y'amusitudde era Nantale bwe yalabye nga Anita atta nnyina, yalaajanye nti, ‘Anita totta maama' bwe yamaze okumutta n'akyuka awali Nantale n'amugwa mu bulago.

"Yakatuze yalabye kabimbye ejjovu n'alowooza akamaze n'akawalula n'akakweka mu kasiko n'asitula omwana n'adduka." Nagawa bwe yagasseeko. Nantale empewo olwamufuuyeeko n'adda engulu n'adduka ng'awanjaga ng'omukazi bw'asse nnyina abantu bamuyambe wabula be yasookeddeko baalowoozezza mulalu okutuusa lwe yagenze ewa ssentebe w'ekyalo.

Omulambo gwa Nakiguli gwagtwaliddwa mu ggwanika e Mulago aba ffamire gye baaguggye ne baziika ku kyalo Jjumba - Genda e Nakifuma mu disitulikiti y'e Mukono. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, Anita bakoze enteekateeka okumuzzaayo e Mukono n'omwana gwe yabbye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...