TOP

Katikkiro akunze Abaganda okuwandiika ebitabo

Added 27th January 2021

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by’olulimi Oluganda nga kino kyakuyamba okuteekerateekera Obwakabaka eky’obugagga eky’omuwendo.

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Katikkiro Mayiga ng’atongoza ekitabo OMUGANDA KIKA. Akutte ekitabo ye Kyewalabye Male.

Bya DICKSON KULUMBA                                                                                                                                             KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga ayongedde okukubiriza abantu okuwandiika ebitabo by'olulimi Oluganda nga kino kyakuyamba okuteekerateekera Obwakabaka eky'obugagga eky'omuwendo.

Kabushenga (ku ddyo) ng'ali ne Kyewalabye Male omuwandiisi w'ekitabo OMUGANDA KIKA.

Okwogera bino yabadde ku mukolo kwe yatongolezza ekitabo ekiyitibwa OMUGANDA KIKA nga kyawandiikiddwa Minisita w'ennono, obuwangwa n'obulambuzi mu Buganda, David Kyewalabye Male n'agamba nti ebitabo ebiri mu lulimi Oluganda bikyali bitono nga kyetaaga buli omu awandiike.

"Ebitabo by'Oluganda bitono nnyo bye tulinawo kale buli awandiika ekitabo ky'Oluganda abeera atuyambye okututeekerateekera eky'obugagga. Bwe tuwandiika ate ne tusoma, tujja kuba tutandise ku lugendo olututwala ku nkulaakulana kuba tujja kuba tugaziya endaba y'ebintu ebijja okutuyamba okwezimba," Mayiga bwe yawabudde.

Katikkiro Mayiga yayongedde n'ategeeza nga bwe kijja okutubeerera okutubeerera ekizibu okukulaakulana okwenkana amawanga g'Abazungu okuggyako ffe ffennyini nga twewandiikidde ebintu byaffe n'agamba nti okuwandiika kubeera kunyweza empagi ewaniridde Buganda.

Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Omutaka Augustine Mutumba Namwama yategeezezza nga kino ekikoleddwa kyakuyamba okwongera okunyweza ebika ate nabyo binyweze Nnamulondo bwatyo ne yeebaza Kyewalabye olw'okwongera okugaziya ekyoto abantu kwe bayigira.

Namwama yasabye ekitabo kino eky'emiko 322 kiteekebwe ku yintaneeti n'abatali mu Uganda basobole okukisomera yonna gye bali mu bitundu by'ensi. Ye Omuwandiisi Kyewalabye Male yategeezezza ng'omulimu guno bwe gumutwalidde emyaka musanvu kuba gubaddemu okunoonyereza kungi okukwata ku bika era ne yeebaza bonna abaguze ekitabo kino.

Mu baaguze ekitabo kino kuliko akulira Vision Group, Robert Kabushenga nga yaguze ebitabo 20 bye yategeezezza nti byakweyambisibwa aba Bukedde Famire mu kusomesa abantu ku bikwata ku bika byabwe. Omukolo gwetabiddwaako abantu ab'ebiti eby'enjawulo okuli Omumbejja Joan Nassolo, Baminisita b'Obwakabaka, abaami b'amasaza, Bannalotale, abakungu mu bitongole eby'enjawulo n'abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...