
Abamu ku bantu abeekalakaasizza.
Bya SAUL WOKULIRA
WALIWO ekibinja ky'abantu abeekalakaasirizza ku ofiisi z'akakiiko k'eby'okulonda e Kayunga nga bagamba nti abantu baabwe baababba obululu.

Bano baabadde baagala okusisinkana akulira ebyokulonda e Kayunga Rashid Musinguzi wabula tebakkiriziddwa kuyingira ggeeti era ebyokwerinda bibadde binywezeddwa.
Ku baserikale ba poliisi eya bulijjo kwongeddwaako aba poliisi erwanyisa obutujju okusobola okunyweza obukuumi.
Bano abakulembeddwa Abdu Birungo owa NRM eyavuganya ku kya kansala ow'eggombolola y'e Kayunga n'awangulwa Yasin Kamulegeya owa NUP bagamba nti bbo nga aba NRM banyigiriziddwa nnyo mu kulonda kuno era baagala obumu ku bululu buddemu okubalibwa kubanga ebimu ku bifo gye baalondera tebyabalibwa n'ebimu byalangirirwa kifuula nnenge.
Wabula Musinguzi yagambye nti bannabyabufuzi abaawangulwa kirabika be batandise okukuma mu bantu omuliro. Yagambye nti amaze mu by'okulonda emyaka 21 wabula ekiri e Kayunga abadde tannakiraba kubanga kirabika abantu baamanyiira okubakyusiza obululu era y'ensonga lwaki ye bwe yakigaana newankubadde baali bamusuubiza omudidi gw'ensimbi kwe kulufuula olutalo.
Agamba nti Bannabyabufuzi be Kayunga enfunda nyingi bagenze ne bamuloopa mu bakama be wabula nabo ekituufu bakimanyi nti abo benyini abaloopa ate bebaagala okubba obululu.
Musinguzi awadde amagezi abo bonna abataamatidde nebyalangiriddwa bagende mu kooti beekubire enduulu naye ye byeyalangirira byebyo ebyavudde mu kulonda.