
Otuba ng'afuna obujjanjabi mu ddwaaliro e Naggalama.
Bya Henry Nsubuga
Abantu babiri ababadde batambulira ku boodabooda emmotoka ewabye n'ebatomera okukkakkana ng'omu emumenye okugulu n'omulala n'afuna ebisago ku mutwe.

Sam Otuba akulira abakuumi ku ssomero lya St. Cyprian e Kyabakadde mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono emmotoka ekika kya Harrier nnamba UAP 387N gw'etomeredde e Kisowera mu maaso g'essomero lya SONAMS ery'ekkanisa erisomesa abasawo.
Akabenje kano kaaguddewo ku Lwokubiri akawungeezi. Otuba yabadde avuga pikipiki Bajaj nnamba UFD 416R ng'aweese ensawo y'amanda n'omuwala eyategeerekeseeko erya Susan ng'ono yasangiddwa mu ddwaaliro e Naggalama gye baddusiddwa ng'ambeera mbi.

Stephen Erotu akola ne Otuba yategeezezza nti ono yamenyese okugulu okwa ddyo n'afuna n'ebiwundu ku mutwe.
Faisal Jagenda omu badduukirize yagambye nti omugoba wa mmotoka eyakoze akabenje yabadde ayisa emmotoka nga bbiri olwo eyiye kwe kwabika omupiira n'ewaba n'etomera abaabadde ku boodabooda.
Jagenda yagambye nti oluvannyuma lw'okukola akabenje, ddereeva wa mmotoka yalinnye boodabooda n'adduka kyokka mmotoka yayonoonese nnyo.
Ab'amagye okuva mu nkambi e Mpoma baayitiddwa okukuuma mmotoka n'ebintu ebyabaddemu obutabibwa. Oluvannyuma poliisi y'e Mukono yazze n'esikawo mmotoka n'egitwala.