
Omubaka Kayemba.
Bya Emmanuel Ssebanenya
Omubaka omulonde owa Bukomansimbi South, Geoffrey Kayemba Solo agambye nti baakugenda mu maaso n'okugoberera ebiragiro bya Pulezidenti waabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine eby'okulemera ku nsonga gye baatandika, okuweereza abantu abaabalonze n'okwewala okugulibwa.
Bobi Wine yabalabudde nti bwe bataakolere bantu b'abalonze, balina obuyinza obutabazzaawo mu palamenti nga bwe baakoze ku baminisita n'ababaka ba NRM ababadde beefaako bokka.
Kiddiridde Robert Kyagulanyi okuyita ababaka bonna abaayitamu ku kaadi ya NUP okwogerako gye bali n'okubaako ensonga zaabafalaasira. Kayemba yagambye nti Kyagulanyi yabasabye buli omu okweteeka mu kiti kye atambuze enjiri y'okununula eggwanga kubanga omulamwa gwe baliko gwe gumu.
Kayemba era yategeezezza nti ebbanga ly'amaze ng'anoonya akalulu, akizudde ng'abantu b'e Bukomansimbi beetaaga okuyambibwa ku bbeeyi y'emmwaanyi eri wansi kubanga kye kirime kye basinga okufunamu ssente, ebitundu ebisinga tebirina masannyalaze, amakubo mabi, amalwaliro matono ate n'agaliyo tegaliimu ddagala n'ategeeza nti ke bamuwadde obuvunaanyizibwa by'agenda okusookerako.
Yayongeddeko nti n'engeri gy'atera okutambula mu nsi z'ebweru agenda kukozesa omukisa guno okusakira abantu be nga tatunuulidde Gavumenti yokka.
Yasuubizza n'okuyamba abavubuka mu kitundu kino okukulaakulanya ebitone byabwe naddala abasambi b'omupiira n'abayimbi kubanga abirinamu obukugu. Kayemba maneja w'abayimbi: Rema Namakula ne Chris Evans ng'ate kittunzi w'abasambi b'omupiira.