
Omugenzi Tamale lwe baamukwatira mu bumenyi bw'amateeka.
BYA MOSES LEMISA
ABATUUZE b'e Kawanda bataayiizza omuvubuka abadde mu kibinja ky'ababbi ne bamukuba ne bamutta ne bamulesa bbebi wa myezi ena. Ivan Tamale baamusse mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri.

Ono yabadde akulira ekibinja ky'abamenyi b'amateeka ekiyitibwa Bapinduyi. Munne gwe yabadde naye baamukubye ne bamumenya amagulu ng'era ye yabuulidde mikwano gye ne famire.
Ssaalongo Sam Kabonge yategeezezza nti Tamale balina amaka ge bazze balondoola nga nnannyini go tabeerawo era olwabawulidde n'atemya ku batuuze banne ne babataayizza.
Yategeezezza nti baabadde n'ebissi n'ebyuma ebimenya amayumba ng'era bazze batigomya abatuuze mu bitundu by'omu Kawempe n'okuteeka abantu ku makubo.
James Muwanga ow'omu Ddobi zooni ku Kaleerwe yagambye nti Tamale yaliko mu kitundu kyabwe naye olukiiko lwa LC wamu n'abatuuze baamugoba ku kyalo n'ekibinja kye kye baali balumiriza okutigomya ekitundu.
Omu ku mikwano gy'omugenzi yategeezezza nti omugenzi abadde yayawukana ne mukyala we gwe yasooka okuzaalamu n'afuna omulala gwalekedde omwana ow'emyezi ena. Omugenzi yaziikiddwa e Masaka ku kyalo Mabyale.