TOP

Barbie alojja ennaku gy'alabidde mu 'busibe'

Added 27th January 2021

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde mu busibe obw'ennaku 11 ze bamaze nga babasibidde awaka.

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Bobi Wine ne Barbie lwe baagenda okwewandiisa.

Barbie Itungo Kyagulanyi muk'omukulembeze w'ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu alojja ennaku gy'alabidde mu busibe obw'ennaku 11 ze  bamaze nga babasibidde awaka.

Abaserikale abaabadde ewa Bobi nga batikka ebyuma byabwe ku kabangali.

Agamba nti baali baakamala okulonda ne bayiwa poliisi n'amagye okwetooloola Magere. Olwaddako ne balaba ng'emmotoka zisomba  kaabuyonjo z'oku mikolo ne weema z'abajaasi era bagenda okwetegereza nga beetoolodde amaka gaabwe nga tebakkirizibwa na kufuluma ggeeti wadde okugenda mu nnimiro okufuna emmere.

Yategeezezza nti embeera eno yabanyiga nnyo kubanga baali tebagyetegekedde, amasannyalaze gaabaggwaako nga tebalina we bagagula ng'ate n'amasimu baali baagaggyako nga tebawuliziganya na bantu b'ebweru.

Barbie yagambye nti kati balina ku buweerero oluvannyuma lwa kkooti okulagira abajaasi bano okwamuka amaka gaabwe wadde mukyalimu abaserikale ababatambulirako.

Ku Lwokubiri Kyagulanyi yayogeddeko eri ababaka abaayitamu ku kaadi ya NUP mu maka ge e Magere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...