
Ssaabasumba Lwanga ng'ateeka ekimuli awaabadde ekifaananyi ky'omugenzi Fr. Ssonko. Omulambo tegwaleeteddwa olw'obulwadde bwa Corona.
Bya LAWRENCE KIZITO
SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alagidde Bafaaza bonna mu ssaza ly'e Kampala okukeberebwa Corona bamanye obulamu bwabwe we buyimiridde.

Ekiragiro kino akiweeredde mu mmisa ey'okusabira omwoyo gw'omugenzi Fr. Edward Ssonko eyafudde ekirwadde kya Corona ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, mu ddwaaliro e Kisubi.
Lwanga mu mmisa gyabaddemu e Lubaga alaze obweraliikirivu nti ssinga ekirwadde kino tebakirwanyisa mu Bafaaza kiyinza okuleka Eklezia awazibu. Okukeberebwa kwa kutandika mu wiiki esooka mu February nga buli musosodooti ali mu Vicariate ennya ezikola essaza ly'e Kampala waakukeberwa.

Asabye abantu ne Bafaaza okugoberera ebiragiro by'abasawo ku bulwadde buno n'abalabula nti bukambwe nnyo nga busobola okuleka Eklezia n'eggwanga nga biri mu katyabaga olw'okuviibwako abantu ab'omugaso.
Ye akulira Seminaliyo y'e Kisubi Fr. Francis Ssengendo agambye nti omugenzi yagayaalamu okwekebeza Corona ate nga yali afunye obubonero ky'agambye nti kye kyamuviiriddeko okufa amangu kubanga baagenze okumukebera ng'amawugwe gamaze okunafuwa ennyo.
Omugenzi Fr. Ssonko yazaalibwa mu kigo ky'e Goli mu 1959 nga yazaalibwa abagenzi Stephen Byekwaso ne Julia Namayanja. Yayawulibwa okufuuka Faaza mu 1986. Abadde yakuguka mu lulimi olulattini nga luno lwe lulimi olutongole olw'Eklezia era nga lwabadde asomesa e Kisubi.