TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alinnye ku byuma by'amasannyalaze waggulu ne yeewanisa abantu emitima

Alinnye ku byuma by'amasannyalaze waggulu ne yeewanisa abantu emitima

Added 27th January 2021

Omuvubuka Ronald Kasirye yeewanisizza abatuuze b'e Ntinda mu Ministers Village emitima bwawalampye waggulu ku byuma ebitwala amasannyalaze ag'amaanyi agafuluma eggwanga.

Kasirye ng'ali waggulu ku byuma by'amasannyalaze.

Kasirye ng'ali waggulu ku byuma by'amasannyalaze.

BYA EDWARDLUYIMBAAZI

Omuvubuka Ronald Kasirye yeewanisizza abatuuze b'e Ntinda mu Ministers Village emitima bwawalampye waggulu ku byuma ebitwala amasannyalaze ag'amaanyi agafuluma eggwanga.

Abaserikale nga bakutte Kasirye okumuteeka mu Ambyulensi ya poliisi.

Abantu bakung'aanye ne bakubira poliisi okuva e  Ntinda okujja okutaasa omusajja ono. Abaserikale olutuuse n'emmotoka zaabwe ne beegayirira Kasirye okukka wansi n'agaana. Balabye mmotoka ze baleese tezisobola kumuggyayo kwe kutumya endala okuva e Ntebe.

Eno olutuuse ate Kasirye n'atandika okukka mpolampola era olutuuse wansi abaserikale ne bamukwata ku mukono ne bamuteeka mu Ambyulensi ya Poliisi ne bamutwala. Bino bibadde bigenda mu maaso ng'abatuuze bakuba enduulu n'okuwaana Kasirye. Kyokka abamu ku batuuze bagambye nti kirabika aliko ekikyamu ku mutwe nga yeetaaga kuyambibwa.

.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...