TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba alagidde abasosodooti bonna mu Kampala okukeberwa Covid19

Ssaabasumba alagidde abasosodooti bonna mu Kampala okukeberwa Covid19

Added 27th January 2021

SSAABASUMBA w’essaza ekkulu erya Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga alagidde Abasosodooti bonna mu ssaza ly’e Kampala okukeberebwa Corona bamanye obulamu bwabwe we buyimiridde.




Ekiragiro kino akiweeredde mu missa ey'okusabira omwoyo gw'omugenzi Fr. Edward Ssonko eyafudde ekirwadde kya Corona ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, mu ddwaaliro e Kisubi.

Lwanga mu missa gyabaddemu e Lubaga alaze obweraliikirivu nti singa ekirwadde kino tebakirwanyisa mu Basosodooti kiyinza okuleka Ekleziya awazibu.

Okukeberebwa kwakutandika mu wiiki esooka mu February nga buli musosodooti ali mu Vicariate ennya ezikola essaza ly'e Kampala waakukeberwa.

Asabye abantu n'abasosodooti okugoberera ebiragiro by'abasawo ku bulwadde buno n'abalabula nti bukambwe nnyo nga busobola okuleka Ekleziya n'eggwanga nga biri mu katyabaga olw'okuviibwako abantu ab'omugaso.

Ye akulira Seminaliyo y'e Kisubi Fr. Francis Ssengendo agambye nti omugenzi yagayaalamu okwekebeza Corona ate nga yali afunye obubonero kyagambye nti kye kyamuviiriddeko okufa amangu kubanga baagenze okumukebera ng'amawugwe gamaze okunafuwa ennyo.

Omugenzi Fr. Ssonko yazaalibwa mu kigo ky'e Goli mu 1959 nga yazaalibwa Abagenzi Stephen Byekwaso ne Julia Namayanja.

Yayawulibwa okufuuka Omusosodooti mu 1986. Abadde yakuguka mu lulimi olulattini nga luno lwe lulimi olutongole olw'Ekleziya era nga lwabadde asomesa e Kisubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...