
Hajji Jamir Ssebalu.
Omukugu mu by'obusuubuzi n'okusomesa abantu ku ntambuza y'emirimu n'enkwata ya ssente, Hajji Jamir Ssebalu akubirizza abantu bonna abalina emirimu okugikwatanga ekyatika n'okuba aboobuvunaanyizibwa nga bagikola.
Agambye nti gwe bawadde omulimu wandifubye okuba ow'enjawulo ku banno, ffaayo ku bakasitoma ng'obawa ekitiibwa, tuuka ku mulimu mu budde ate okole n'omutima gumu okutwala kkampuni oba bizinensi eyo mu maaso.
Hajji Ssebalu alina akannyomero mu pulogulaamu y'Ekyenkya ku Bukedde TV1, yagambye nti abantu abamu batuuka ku mirimu ne badda ku ssimu n'okunyumya emboozi ne beerabira kye balina okukola. Ate abalala naddala abakola mu Gavumenti badda mu kutuula mu ofiisi mu kifo ky'okugenda mu bantu be balina okuweereza.
Yategeezezza nti embeera eno yeeretedde n'abantu abamu okwekyawa olw'obutafuna mpeereza gye bateekeddwa okufuna olw'abakozi abagayaavu.