TOP

Dr. Lwanga akyusizza Fr. Nkeera

Added 28th January 2021

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Bafaaza n'akyusa abadde omwogezi w'essaza, Fr. Joseph Mukasa Nkeera.

Dr. Lwanga ne Fr. Nkeera.

Dr. Lwanga ne Fr. Nkeera.

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Bafaaza n'akyusa abadde omwogezi w'essaza, Fr. Joseph Mukasa Nkeera.

Amusindise mu kigo kya St. Charles Lwanga e Ggaba ng'omumyuka wa bwanamukulu awabadde Fr. Joseph Mary Bbuye gwe yaggyeeyo n'amutwala mu kigo kya Our Lady & St. Jude e Naggulu ng'adda mu kifo ekyalimu Fr. Godfrey Kyeyune eyafa nga December15, 2020.

Fr. Nkeera yaweereddwa n'obuvunaanyizibwa obulala okusomesa mu Seminary ya St. Mbaga e Ggaba. Enkyukakyuka zino we zijjidde nga Ssaabasumba ayita mu kusoomoozebwa olw'engeri by'azze ayogera gye bifulumidde mu mikutu egy'enjawulo olumu n'ategeeza nti baabitapuse kifuulannenge. Ensonda e Lubaga zaategeezezza nti Ssaabasumba tabadde musanyufu n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku byamawulire ng'agamba nti kiremeddwa okukwata obulungi ensonga z'amawulire so nga kirina okulunhhamya by'abeera ayogedde.

Bukedde yategedde okuva mu nsonda ezeesigika nti enkyukakyuka za Bafaaza bano babiri ze zaasoose okulangirirwa wabula essaawa yonna Dr. Lwanga agenda kulangirira anadda mu kifo ky'omwogezi w'essaza alangirire n'enkyukakyuka endala. Fr. Nkeera bwe yatuukiriddwa yategeezezza nti obuweereza bw'Eklezia tebulinga bwa poliisi nti bw'okyusibwa oba osse eddaala ng'abamu bwe balowooza.

Ssaabasumba alina obuyinza okukola enkyukakyuka mu basosoroodooti era ye alina essanyu nti aweereddwa obuvunaanyizibwa okuddamu okugunjula emiti emito mu nsonga z'amawulire omulimu gwe yakugukuma era n'agukola okumala ebbanga eddene.

Wabula yeekokodde emikutu gya Social media gy'agamba nti gikoze kinene okusaasaanya amawulire ag'obulimba ate ng'abakulira ebitongole byamawulire tebabirinaako nnyo buyinza nga bwe kiri ku mikutu emirala. Kyokka agamba nti yadde guli gutyo kyokka gimuyambye nnyo okutuusa obuweereza ku Bakristu mu kiseera ky'omuggalo.

Obuvunaanyizibwa obupya abutandika Febraury 1, omwaka guno era ku Lwokusatu yatadde obubaka ku mukutu gwa bannamawulire b'Eklezia ogwa Catholic Press ng'abategeeza mu butongole nga bwe yaweereddwa obuvunaanyizibwa obulala.

Fr. Bbuye y'omu ku bafaaza abaasindikibwa mu luwummula olutali lugere mu 2019, ng'ono ye yali bwanamukulu w'e Lubaga eyasikizibwa Fr. Achilles Mayanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...