TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA ettukizza eby'okusolooza ttakisi ssente za lisiiti

KCCA ettukizza eby'okusolooza ttakisi ssente za lisiiti

Added 28th January 2021

KCCA ettukizza eby’okusasuza abattakisi ssente za lisiiti eya buli mwaka era ebalagidde beetereeze ng’okusasula kutandika mwezi gujja ogwa Febuary. Balagiddwa nti ppaaka ya ttakisi enkadde olumalirizibwa tegenda kukkiriza ttakisi yonna kuddamu kusimba ku nguudo, bonna bateekwa kuyingira bakolere munda.

Abamu ku ba ssentebe b’ebibiina bya ttakisi okuli Kalifan Musajja Alumbwa (ku kkono) ne Mustafa Mayambala.

Abamu ku ba ssentebe b’ebibiina bya ttakisi okuli Kalifan Musajja Alumbwa (ku kkono) ne Mustafa Mayambala.

Bya HANNINGTON NKALUBO                                                                                                                                       KCCA ettukizza eby'okusasuza abattakisi ssente za lisiiti eya buli mwaka era ebalagidde beetereeze ng'okusasula kutandika mwezi gujja ogwa Febuary. Balagiddwa nti ppaaka ya ttakisi enkadde olumalirizibwa tegenda kukkiriza ttakisi yonna kuddamu kusimba ku nguudo, bonna bateekwa kuyingira bakolere munda.

Dayirekita wa Kampala, Dorothy Kisaka yayise abakulembeze b'ebibiina ebigatta aba ttakisi mu kibuga mu lukiiko olwatudde ku City Hall eggulo. Abaabaddewo kwabaddeko abakulira ekibiina kya UTRADA, KOTSA, UTODA, Inter Park, COTODA n'abamu ku baddereeva.

Olukiiko olwatandise abakulembeze b'abaddereeva baasoose kwemulugunya nti banyigirizibwa kyokka KCCA tebayamba. Baayanjudde ebizibu omuli ppaaka za ttakisi ezeesudde Kampala nti KCCA egaanyi okuziwa ebbaluwa okukola, nti ppaaka ya ttakisi enkadde eruddewo nnyo okuggwa ate n'okusasula ssente za lisiiti ez'omwaka zigira zirindako.

Omumyuka wa dayirekita, Yinginiya David Luyimbazi Ssali eyabaddewo ku lwa Kisaka yabakakasizza nti buli ekibaluma bagenda kukimalawo nga bayita mu kuteesa. Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti aba ttakisi baali bateekwa kutandika kusasula mu January kyokka embeera ebadde ya byakulonda. "Okusasula kutandika February era buli kimu kyaggwa dda.

Mmotoka ezikolera ku hhendo ennyimpi ezitasukka mayiro 21 zigenda kusasula 720,000/- ate ezisingawo okutuuka ku nsalo y'eggwanga zaakusasula 840,000/- buli mwaka," Nuwe Abine bwe yagambye. Ssente zino zakkiriziganyizibwaako abakulembeze b'abaddereeva ba ttakisi omwaka oguwedde bwe baali basisinkanye pulezidenti Museveni mu maka ge e Ntebe.

Abattakisi baludde nga basasula 120,000/- buli mwezi kyokka ne beemulugunya nti nnyingi. Baasalawo nti bazikendeereze wakati era KCCA emaze ebbanga ng'ekyetereeza okulaba nga baddamu okusasula omwaka guno. Bassentebe ba ttakisi okuli owa Inter Parks, Ssaalongo Kalifan Musajjalumbwa ne ssentebe wa UTRADA, Mustafa Mayambala baategeezezza nti baagala KCCA emalirize mangu okukola ppaaka ya ttakisi enkadde bawone okukolera ku luguudo.

Kalifan yagambye nti babakakasizza nti bagenda kusooka balambule ppaaka balabe w'etuuse. Ate Mayambala yagambye nti tebannakkiriziganya ku kiseera we bagenda kutandikira kusasula. Mayambala ne Musajjalumbwa baagambye nti baasaba KCCA eyanguwe okuwa ppaaka ez'obwannannyini Gazette baddereeva basobole okukolera mu bifo ebimanyiddwa mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...