TOP

Minisita Ssempijja akyayomba

Added 28th January 2021

MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza buli muntu okuggyako ye! Ekikyasembyeyo kye kibiina kye kyennyini ekya NRM kye yalangidde okubaamu enkwe n'okweyagaliza ebyamuviiriddeko okuwangulwa n'abakulembeze abalala.

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Bya JOHN BOSCO SSERUWU                                                                                                                                                 MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza buli muntu okuggyako ye! Ekikyasembyeyo kye kibiina kye kyennyini ekya NRM kye yalangidde okubaamu enkwe n'okweyagaliza ebyamuviiriddeko okuwangulwa n'abakulembeze abalala.

Yabadde mu Magezi Cell e Lukaya mu Kalungu ng'ayogerako n'abamu ku bawagizi be n'alaga okutya olw'engeri bannakibiina kino gye baabadde bakukuta n'abeebibiina ebirala ebivuganya Gavumenti nti basobole okusuula abanene abali mu buweereza bo bwe beegwanyiza ekintu kye yagambye nti kyandisaanyawo ekibiina mu bbanga ttono singa tekinogerwa ddagala.

"Eyo enkola si ye ntuufu, nze okutuuka wano wendi kubadde kukola nnyo abantu ne bandabamu omugaso. Sikozesa lukujjukujju na fitina kulwanyisa bansinga nti nfune ebifo byabwe kubanga nkimanyi nti ensi si bwetyo bwetambula," Ssempijja bwe yakkaatirizza.

Bino yabyogedde tannava mu kkooti e Masaka ku musango gwe yawaaba ng'ayagala obululu buddemu bubalibwe ogwayimiriziddwa olw'ebbokisi emu okusangibwa nga siiru nsumulule. Wabula oluvuddeyo ayongedde okusaba abantu mu ggwanga obutava ku mulamwa NRM gw'eriko okutwala eggwanga mu maaso n'enkulaakulana nti kubanga bbo bamanyi gye baaliggya era ne gye balitwala.

Abantu ba Kalungu East yabasabye basigale nga bagumu nti wadde waliwo ebigambo by'ayise ebitalina mitwe na magulu by'agambye nti tebigenda kumugya ku mulamwa gwa kubakwasizaako mu kwekulaakulanya.

Ssempijja y'omu ku ba Minisita ba Gavumenti abaasuuliddwa mu kalulu akaakaggwa nga Francis Katabaazi owa NUP ye yalangiriddwa ku ky'omubaka wa Kalungu East ku njawulo ya bululu 1,333 okusinziira ku kakiiko k'ebyokulonda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...