
Abamu ku bammemba nga bali mu lukiiko.
EKIRWADDE kya ssennyiga omukambwe owa COVID 19 n'endwadde endala gye bikomye okuluma abantu n'okubasannyalaza mu byenfuna nga bangi ne ssente z'okwejjanjaba endwadde ezibatawaanya zibeekubya mpi.

Wano abaddukanya ekibiina ky'obwegassi ekya ‘Masaka Microfinance & Development Cooperative Trust Ltd (MAMIDECOT) we basalidde amagezi ag'okuwewulirako bammemba baabwe ku by'obulamu.
Omuwandiisi w'ekibiina kino, Paulo Luberenga n'akikulira Julius Kalemeera bategeezezza nti okuva COVID 19 lwe yabalukawo mu ggwanga,bammemba bangi abasannyaladde mu byenfuna n'abamu ne balemererwa okwetuusaako obujjanjabi.
Bannyonnyodde nti bawaliriziddwa okuyunga bammemba n'abafamire zaabwe ku nkola ya Yinsuwa y'ebyobulamu ku ssente ez'abamufunampola ng'abasooka basasula 5,000/-, abaddako 7,000/- ne 10,000/- buli mwezi.
Kaweefube ono bamwanjulidde mu musomo gwe babategekedde mu kisenge omuteeserezebwa. Aba Turaco Insurance Ltd abakuliddwa Amuza Mutebi basomesezza abantu bano ku migaso gya Yinsuwa y'ebyobulamu n'engeri gyeyanguyiza omuntu okujjanjabwa ne bw'aba talina ssente.
Wabula bammemba basabye abaddukanya Yinsuwa ono okwongeza ku myaka e 65 egy'etteeka gituuke ku myaka 80 nti we basinga okugyetaagira. Luberenga ne Kalemeera basabye bammemba okweyamba enkola eno baleme okukaluubirirwa mu by'obujanjabi.